Ebikwekweto biyodde 236 mu Kampala n’e Mukono

POLIISI ekoze ebikwekweto mu Kampala n’ebitundu by’e Mukono mw’ekwatidde abavubuka 236 abagambibwa okukola eggaali z'ababbi ne banyaga abantu n'okubatuusaako obuvune.

Abamu ku baayoleddwa mu kikwekweto.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

POLIISI ekoze ebikwekweto mu Kampala n’ebitundu by’e Mukono mw’ekwatidde abavubuka 236 abagambibwa okukola eggaali z'ababbi ne banyaga abantu n'okubatuusaako obuvune.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano, Patrick Onyango yagambye nti, okukola ebikwekweto bino poliisi yakwataganye n’amagye n’egenda mu byalo eby’enjawulo n’ekwata abateeberezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka omuli okufuuweeta enjaga n’okubeera mu bifo ebimanyiddwa okuba eby’obulabe.
"Poliisi yatuukiriddwa abakulembeze b’ebyalo n’abantu baabulijjo ne bagitegeeza ng’obumenyi bw’amateeka bwe buzzeemu era abatwala poliisi ez’enjawulo ne baweebwa ebiragiro okukola ebikwekweto era bangi abakwatiddwa ne basangibwa n’ebintu omuli enjaga, ebyeyambisibwa okumenya amayumba nga byonna byatwaliddwa nga ebizibiti era abaakwatiddwa baatwaliddwa mu kkooti," Onyango bwe yategeezezza.
Yagambye nti, ebikwekweto bino byatandise ku Mmande poliisi e Mukono bwe yagenze ku byalo okuli; Namuyenge, Nabuti ne Bajjo n’ekwata 24 abateeberezebwa okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka n’ebaggalira.
Yategeezezza nti, era poliisi ya CPS yakoze ekikwekweto ekyasoose ku Mmande, n’ekwata abagambibwa okubeera mu bumenyi bw’amateeka 167 nga bano baabadde beerimbika mu kubeera abanoonya obucupa, abasula ku mbalaza z’ebizimbe n’abeefuula nti, bakung’aanya kasasiro nga baasangiddwa ewa Kisekka, Ppaaka Enkadde, Nakasero ne ku Kampala Road.
Police ya CPS yazzeemu n’ekola ekikwekweto mu kiro ekyakeesezza ku Lwokusatu n’ekwata abalala 23 nga batwaliddwa mu kkooti ya City Hall