ABAMU ku ba NRM abaagudde mu kamyufu k’ekibiina, balaalise okwesimbawo nga tebalina kibiina singa akakiiko k’ebyokulonda akakulirwa Dr. Tanga Odoi tekagonjoola kwemulugunya kwabwe.
Bano basoba mu 100, baatutte okwemulugunya kwabwe eri akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda nga bawakanya ebyavudde mu kamyufu era abamu baasabye bakkirizibwe bakomewo okwesimbawo ku bwannamunigina nga beesigamye ku kibiina mu kalulu ka bonna.
Wabula Dr. Tanga Odoi agamba nti, abaameggeddwa mu kamyufu naddala abanene bakkirize ebyavudde mu kalulu kuba ne bwe baneewaggula ne bakomawo okwesimbawo ku bwannamunigina era akalulu kajja kubakuba kuba abalonzi be baasalawo. Tanga era yakkaatiriza nti, bo nga ab’akakiiko k’ekibiina ak’ebyokulonda si ba kukkiriza baagudde mu kamyufu kubatiisatisa wabula yabawadde amagezi batwale okwemulugunya kwabwe era kujja kuwulirwa bakole okusalawo okw’amazima.
Ennaku kati ziweze 7 okuva akamyufu ka NRM ak’ababaka lwe kaggwa era abatwala okwemulugunya beeyongera nga kati bali 103. Ku baakatwalayo okwemulugunya kuliko; omubaka w’e Lwemiyaga, Theodore Ssekikubo eyagwa mu kamyufu era yalabiddwaako ng’ayambalirira ab’akakiiko k’ekibiina ak’ebyokulonda ng’abalumiriza nti, tebaabayamba nga babbibwa akalulu.
Minista w’amayumba, Persis Namuganza ng’ono akakiiko kaasazeewo nti, abaalangirirwa e Namutumba be balina okugenda mu maaso n’okukwatira ekibiina bbendera, kyamuggye mu mbeera n’alangirira nti, wa kwesimbawo ku bwannamunigina.
Minista omubeezi ow’emirimu, Musa Ecweru nga ye mubaka owa Amuria County naye yakubiddwa mu kamyufu era yatutteyo okwemulugunya. Yategeezezza nti, akalulu tekaalimu bwenkanya n’alumiriza nti, abamuvuganya baakozesa abaana mu kulonda ng’ayagala obuwanguzi bwabwe busazibwemu.
Abalala abaatutte okwemulugunya kwabaddeko omubaka omukyala owa distulikitti y’e Luuka, Esther Mbayo, omubaka owa Nakaseke North, Enock Nyongore, Shamim Nanfuma eyawangulwa ku kifo ky’omubaka omukyala owa Kampala naye yatutte okwemulugunya kwe ng’alumiriza nti, eyalangirirwa Amina Lukanga teyalina buwagizi. Don Vincent Bwana eyavuganya ku kifo ky’omubaka owa Luuka South ne munne bwe baakubwa akalulu Daniel Kibira nabo baatutte okwemulugunya.
Munnamateeka wa NRM, Enock Barata yategeezezza nti, baakutandika okuwulirizaokwemulugunya nga July 30, 2025.