MINISITA w’ensonga z’omunda mu ggwanga, Maj. Gen. Kahinda Otafiire alagidde poliisi okukwata n’okuvunaana abasomesa abakyalemedde ku muze ogw’okukuba abaana embooko nga bali mu masomero wamu n’ababawa ebibonerezo ebikambwe.
Bino biri mu kiwandiiko ky’afulumizza ng’ategeeza nti, newankubadde Gavumenti yafulumya etteeka eri abasomesa ng’ebatangira okukuba abaana embooko nga bali ku masomero, wakyaliwo abakyakola omuze guno, ekityoboola eddembe ly’abaana nga n’abamu kibatiisa okugenda ku masomero.
Minisita yagambye nti, abayizi bangi bakubwa abamu ne batuusibwako n’ebisago kyokka ne batya n’okuloopa ku poliisi. Yajjukizza abasomesa nti, okukuba abaana embooko musango oguvunaanibwa mu mateeka nga n’olwekyo abakyenyigira mu muze guno balina okugukomya ng’omukono ogw’ekyuma tegunnabakwatako.
Era yalagidde poliisi okukwata era evunaane abasomesa abakyakuba n’okutulugunya abaana b’eggwanga. Yasabye n’abakugu okuva mu minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo okubangula abasomesa ku ngeri gye basobola okugunjulamu abayizi nga tebabakubye kibooko.
Ekiragiro kya minisita kyayaniriziddwa abasomesa okuva mu masomero ag’enjawulo ne bagamba nti, enkola y’okukuba abayizi kibooko yaggwaako dda era erina okudibizibwa.
Omukulu w’essomero lya Bagezza Seed School erisangibwa ku kyalo Kibalinga mu disitulikiti y’e Mubende, Tom Samuel Mutunzi yagambye nti, newankubadde abaana b’edda baakubwangamu kibooko ku ssomero ne babaako kye bakyusa, ab’ennaku zino tebasaana kukubwa n’akatono.
Yagambye nti, ensangi zino ebirwadde bingi mu bantu ng’osanga abaana ababirina ng’osobola okumukuba ate n’afuna obuzibu obulala. Yagasseeko nti, waliwo n’omusomesa asobola okukuba omwana olw’ekiruyi ky’aba nakyo oluusi nga yakiggye waka olwo n’amukuba bubi olw’obusungu ng’ayinza n’okumuleetera obuvune n’olwekyo ekiragiro kya minisita takirinaako buzibu.
Ate Omukulu w’essomero lya Kitante P/S, Jane Kyakuwa yagambye nti : “Enkola y’okukuba abaana, amasomero mangi gaagivaako dda nga bwe wabaawo ensobi gye bakoze tufuba okubabuulirira era enkola eno tugirabye evaamu ebibala. Kyokka n’eky’okusiba oyo asangiddwa ng’akuba omwana sikiwagira. Gavumenti esaana n’esooka eyongera okubangula abasomesa ku bulabe obuli mu kukuba omwana nga tennasiba musomesa akoze kino. Asangiddwa ng’akubye omwana asaana n’asooka abuulirirwa nga waakiri omuze guno bw’agulemerako n’alyoka atwalibwa ku poliisi.
Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Kassanda, Abudu Ssekabira Lukookya yalabudde abasomesa nti, oyo anaagwa mu mikono gya poliisi ng’akyakuba abayizi, bw’anaatwalibwa mu kkooti minisitule y’ebyenjigiriza tejja kumuwolereza kuba etteeka lyayita dda erigaana abasomesa okukuba abaana n’okubawa ebibonerezo ebikambwe.
Yasabye abakyalina omuze guno okwekomako okwewala ebizibu ebiyinza okubatuukako.