LOODI MEEYA, Erias Lukwago ng’ali n’akulira KCCA, Hajati Sharifah Buzeki beeyanjudde mu kakiiko ka palamenti akalondoola enzirukanya y’emirimu mu bitongole bya gavumenti, ababaka ne babakunya ku nsaasaanya erimu ebirumira okusinziira ku lipooti y’omubaliriza w’ebitabo bya gavumenti.
Mu nsisinkano eno, Lukwago yategeezezza nti talina ky’agenda kwogera ku biri mu lipooti eyakoleddwa Buzeki ne banne kubanga talina kyagimanyiiko.
Yeebuuzizza kye yakola lipoota y’Omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 okuba nga ye taweebwa lipooti ku ebyo ebyemulugunyizibwako okusobola okubitereeza ng’okufuna omukisa okutunula mu lipooti eno alina gwe yagiggyeeko ku Lwokubiri ate nga temuweereddwa mu butongole.
Eky’okugoba Meeya mu mirimu gya KCCA, omubaka Fred Kayondo (Mukono South) yagambye nti kirabika kifuuse kya nsikirano nga tebamanyi lwaki buli kaseera kibeera bwekityo.
Yabadde akyemulugunya, omubaka Nathan Itungo (Kashari South) n’abuuza aba ofiisi y’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti lwaki tebawa meeya kkopi ya lipooti ku ebyo bye beemulugunyaako.
Mu kwanukula, baategeezezza nti mu mateeka ofiisi ye teteekeddwa kuweebwa kkopi nga ofiisi ezirina okufuna kuliko ye y’akulira KCCA, Kaliisoliiso wa gavumenti, minisita w’ebyempisa n’omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyensimbi.
Wabula kino Loodi meeya yakiwakanyizza, amyuka ssentebe w’akakiiko era omubaka wa Nakaseke Central, Allan Mayanja yasabye Buzeki obutabaako kyakweka Lukwago, ne baweebwa ennaku ttaano okuddamu okutunula mu lipooti eno basobole okunnyonnyola ebirumira