Nnamukadde agambibwa okutta mutabani we asindikiddwa mu kkomera e Luzira

Ruth Nagadya Nagawa 68, omutuuze w'e Busega- Kabaale zzooni mu Lubaga y'agasimbaganye n'omulamuzi wa kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo Amon Mugezi amusomedde ogw'okutta omuntu

Nnamukadde agambibwa okutta mutabani we asindikiddwa mu kkomera e Luzira
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision
#Kkomera #Luzira #Nnamukadde #Kutta muntu

NNAMUKADDE agambibwa okulwanagana ne mutabani we ow'emyaka omwenda ekyamuviirako okufa, kkooti e Mengo emusindise ku limanda e Luzira okutuusa nga March 28, 2024 lw'anaddamu okusomerwa omusango guno.

Ruth Nagadya Nagawa 68, omutuuze w'e Busega- Kabaale zzooni mu Lubaga y'agasimbaganye n'omulamuzi wa kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo Amon Mugezi amusomedde ogw'okutta omuntu ekikontana n'obuwaayiro 188 ne 189 mu Ssemateeka w'ebibonerezo.

Abaserikale Nga Bazzaayo Nagadya Mu Kkomera.

Abaserikale Nga Bazzaayo Nagadya Mu Kkomera.

Kigambibwa nti enjega eno yaliwo nga February 16, 2024 e Busega Kabaale, Nagawa n'abalala abatannakwatibwa bwe bakkakkana ku mwana Wilberforce Bitosi ne bamutta.

Omulamuzi Mugezi yamugaanyi okubaako ne ky'ayogera olw'okuba omusango ogumuvunaanibwa gwa Naggomola n'amutegeeza nti guwulirwa mu kkooti enkulu era bw'aba alina ky'ayagala gy'ateekeddwa okuyisa okusaba kwe.

Nagawa yategeezezza nti ono eyafa mutabani we ddala muganda we amuddako gw'azaala wabula ng'omwana oyo yalina ekirwadde ekimukwata ekimuleetera okutabuka.

 

Agamba nti ku olwo yali atudde awo anyumya n'abantu Bitosi n'atandika okumuggunda ebitoffaali n'agakonde mu mugongo abaaliwo kwe kwebuuza omwana ekimukubisa nnyina bw'atyo era ne bamukwata ng'ayambibwako abaaliwo.

Nagawa olugero talumalaayo wabula anyumya nti ekyaddako kuwulira nti omwana afudde naye bw'abadde asindikibwa mu kkomera abuuzizza omulamuzi nti lwaki bali abaamuyambako tebakwatibwa nabo ne bavunaanibwa.

Yasindikiddwa ku Limanda e Luzira okutuusa nga March 28, lw'anaddamu okulabikako mu kkooti e Mengo nga bw'alinda oludda oluwaabi okukung’aanya obujulizi obwetaagisa okusindikibwa mu kkooti enkulu atandike okuwerennemba n'ogw'okutta omuntu.