ABAYIZI 2087 bebatikkiddwa mu masomo ag'enjawuulo nga ku bano kuliiko aba PHD 25 Masters 418 , PGDS 217 , Degrees 1025 , Diploma 363 wamu ne Certificate 139 ku matikirwa ag'omulundi ogwa 27 bukyanga tendekero wa Nkumba atandikawo

Prof Jude Lubega Amyuuka Senkulu wa Nkumba agambye nti abayizi bonna bakuvaawo nga balina empapula zaabwe ezikakasa nti bamaliriza emisomo.
Ono asabye abayizi bano okunoonya emirimu oba okwetonderawo emirimu kubanga bafunye obukugu obumala okukola ate tebalina kunyooma mirimu ate bayambeko banabwe okufuna emirimu .
Francis Ssengendo omuwandiisi wa Nkumba agambye nti abayizi bano betegefu okuwereza eggwanga okulyongerako n'olwekyo basobola okukola .
Ono agenze mu maaso n'agamba nti abaana bano bakugu nnyo okukola munsi yonna nga si mu Uganda mwoka ate balina empisa enungi okukwatagana na buli muntu mu ggwanga .
Abakungu 25 abasuubirwa okutikkirwa mu masomo agenjawulo nga ku bano kuliiko Omuyimbi Catherine Kusasira ne Charles Matovu Omubaka wa Busiro South kwosa n'abalala bangi okuva mu police .