Eyaliko omuduumizi wa UPDF, Maj. Gen (rtd) Mugisha Muntu alaze ppulaani nnamutaayiika gy'alina okukwatagana n'abakulembeze banne mu mawanga ag'omuliraano okusobola okunyweza ebyokwerinda.

Muntu ng'awuubira abantu be e Kakumiro.
Bw'abadde ayogerako eri Bannamawulire oluvannyuma lw'okukomekkereza okusaggula akalulu mu bitundu by'e Bunyoro, ategeezezza nti kikulu nnyo abakulembeze mu mawanga ga Africa okukolera awamu okunyweza ebyokwerinda okusobozesa bizinensi okusigala nga zitambula mu mawanga gonna.
Muntu awadde eky'okulabirako nti kikulu nnyo amagye ga Uganda okubeera mu ggwanga lya Somalia okutebenkeza emirembe okusobola okuziyiza abatujju abayinza okwagala okutabangula East Africa ekiyinza okusannyalaza eby'obusuubuzi.
Wabula, ategeezezza nti ssinga afuuka Pulezidenti wa Uganda, waakwogereza bakulembeze banne mu Mawanga ga East Africa okulaba nga bazimba eggye ery'awamu erisobola okukuuma emirembe mu mawanga abatujju gye baba baagala okusimba amakanda.
Muntu asabye Bannayuganda bamulonde n'abagumya nti waakweyambisa obukugu bw'alina okulaba nga ye ne banne banyweza obutebenkevu mu Uganda ne mu mawanga ag'omuliraano.
Eno Muntu,ayogedde ku bizibu bye yasanze mu bitundu by'e Bunyoro omuli; Ebbula ly'Eddagala mu Malwaliro , Enguudo embi obwavu n'ebirala n'anenya abanene abali mu gavumenti abava e Bunyoro okwefuula bakyesirikidde ng'abantu ababalonda banyigirizibwa n'asaba abantu b'e Bunyoro okumulonda okubakolere ku bizibu byabwe.
Muntu oluvannyuma,yeeyongedde mu disitulikiti y'e Kyegegwa ne Kyenjojo okusaggula akalulu.