Charles Sande Kabule, ssentebe waa Kakira Town Council (LC3) asunsuddwa ku bwannamunigina avuganye ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti ekya Butembe county mu disitulikiti y’e Jinja.

Abakyala n'abaami abaawerekedde bwe babadde bafaanana.
Ekyasinze okwewuunyisa, abaamuwerekeddeko bonna ng'ajja okusunsulwa bazze batamidde nga n’abamu engoye ezimu baazeeyambudde.
Kigambibwa nti ekyalo kino eky’e Butembo kimanyikiddwa nnyo mu kulima ebikajjo n’okuyiisa omwenge bigere nti era ye nsonga lwaki abaawerekedde ku Kabule abasinga bonna bazze beewaddemu.

Bano bo baasazeewo kujja bwe bati.
Abakyala abamu bajjidde mu bugoye bumpi ddala ate ng’abalala baggyeemu bbulawuzi zaabwe anti ng’essanyu ly’omuntu waabwe okusunsulwa libula kubatta!