Amawulire

Gwe baggyeeko omwana ng'afudde ne bamugabira omusajja omulala ayagala DNA

OKUFA kwa Maria Angella Namirembe , abadde omuyizi wa yunivasite ya UCU ku ttabi ly’e Kampala kusajjudde embeera, omutuuze Robert Mutebi ow’e Mutungo Zooni IV agamba nti ye kitaawe, bw’agenze mu kkooti ng’awakanya ekya nnyina w’omwana okumugabira omusajja omulala.

Gwe baggyeeko omwana ng'afudde ne bamugabira omusajja omulala ayagala DNA
By: Hannington Nkalubo, Journalists @New Vision

OKUFA kwa Maria Angella Namirembe , abadde omuyizi wa yunivasite ya UCU ku ttabi ly’e Kampala kusajjudde embeera, omutuuze Robert Mutebi ow’e Mutungo Zooni IV agamba nti ye kitaawe, bw’agenze mu kkooti ng’awakanya ekya nnyina w’omwana okumugabira omusajja omulala.

Maria Namirembe bw'abadde afaanana.

Maria Namirembe bw'abadde afaanana.

Mutebi yawaabye omsango mu kkooti y'e Luzira n’agisaba ekiragiro ekiyimiriza okuziika Namirembe basooke bakebere endagabutonde (DNA) okukakasa kitaawe w’omwana omutuufu.

Embeera eno yaddiridde maama w’omugenzi, Agnes Nabisere okutegeeza nti yamuzaala mu Lawrence Kiwanuka, era nti y’abadde amulabirira.

Mutebi (ku ddyo) ne Nabisere lwe baali ku ggwanika e Mulago.

Mutebi (ku ddyo) ne Nabisere lwe baali ku ggwanika e Mulago.

Okusika omuguwa ku kitaawe wa Namirembe kwatandikira ku ggwanika e Mulago, Nabisere gye yagenda ekipayoppayo oluvannyuma lw’okumubikira muwala we

.

 Namirembe yafiira mu kabenje bwe yali atambulira ku bodaboda ku Mmande kumakya ng’agenda okusoma ku yunivaasite ya UCU ku ttabi ly’e Kampala erisangibwa okuliraana Olubiri.

Ku Lwokubiri, Nabisere yakeera ku ggwanika okuggyayo omulambo, era eno Mutebi gye yamusanga ng’ali ne Loodi Meeya Erias Lukwago.

Loodi mmeeya Lukwago (ku ddyo) ne mmeeya w'e Nakawa Mugambe nga baganzika ekimuli ku ssanduuke y'omugenzi.

Loodi mmeeya Lukwago (ku ddyo) ne mmeeya w'e Nakawa Mugambe nga baganzika ekimuli ku ssanduuke y'omugenzi.

Mutebi yategeeza Lukwago pulogulaamu y’okukungubagira muwala we,nwabula Nabisere teyamulinda kumalayonn’abiwakanya era n’amulabula obuteeyingiza mu nteekateeka ya kuziika muwala we n’agattako nti ku ky’atuuseeko, Mutebi tajja kulaba ku mulambo gwa muwala we wadde okumuziika ku kiggya kyabwe.

Eggulo (Lwakuna), omubiri gwa Namirembe gwatwaliddwa mu Klezia ya Christ The King e Nakasero okugusabira, wabula aba ffamire ya Mutebi tebaalinnyeeyo.

Kigambibwa nti mu kiseera ekyo Mutebi yabadde akwataganye ne bannamateeka be nga bakola ku musango gw’okuyimiriza okuziika Namirembe.

Mu mmisa eyakulembeddwa Fr. Fredrick Kiwanuka, maama wa Namirembe gye yasinzidde ne yeebaza kitaawe w’omugenzi (Kiwanuka) olw’okumulabirira n’okumusomesa.

Nnyina wa Angella lwe yali ku ggwanika ng'ayaziirana.

Nnyina wa Angella lwe yali ku ggwanika ng'ayaziirana.

Kiwanuka, nga mu kiseera kino ali mu Amerika, yaweerezza obubaka ku ssimu ne babusomera abakungubazi n’ategeeza nti oyo ye mwana owoobuwala yekka gw’abadde naye.

Ffamire ya Kiwanuka ng’ekulembeddwa omukozi mu kitongole kya KCCA, Prosper Nkonge Lwamasaka, yayogedde nti muwala waabwe oyo, kitaawe Kiwanuka abadde amwagala nnyo ye nsonga lwaki yamutuuma amannya aga Namirembe Angella Maria Ssimanyibwendiba Nsereko.

Mmisa yeetabiddwaako abantu ab’enjawulo okwabadde Katikkiro eyawummula Joseph Mulwanyamuli Ssemwogerere, eyataddeko ekimuli ku lwa kitaawe w’omugenzi. Abalala kwabaddeko; Joyce Baagala, Dr. LulumenBayigga, Derrick Nyeko n’abalala.

Tags:
Amawulire
Maria Angella Namirembe
Kufa
Kabenje
Kitalo
Bboda