Amawulire

Zawedde embaga agireeta Uganda

JULIET Zawedde ayongedde okukakasa nti ssente si kizibu kye. Ono yasasulidde abantu abasoba mu 50 tiketi z’ennyonyi okugenda okubeerawo ng’abajulizi ku embaga ye n’omuyimbi Bushoke Ruta Maximilian. 

Zawedde embaga agireeta Uganda
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

JULIET Zawedde ayongedde okukakasa nti ssente si kizibu kye. Ono yasasulidde abantu abasoba mu 50 tiketi z’ennyonyi okugenda okubeerawo ng’abajulizi ku embaga ye n’omuyimbi Bushoke Ruta Maximilian. 

Zawedde Ne Bba Bushoke

Zawedde Ne Bba Bushoke

Era abaabadde ku embaga eno bagamba buli kimu kyabadde mawa era yalabise nga baagiyiyeemu omusimbi omuyitirivu. 

Owoolugambo waffe ali mu America embaga gye yabadde, yatutegeezezza nti waakukola emikolo gy’embaga emirala mu Uganda omwezi ogujja n’e Tanzania gye bazaala Bushoke. Kino akikola okukakasa abateesi abaali bawoza nti ettooke (ntegeeza ssente) tewali kuba ye azeewulira.

Tags:
Amawulire
Mbaga
Bushoke
Zawedde
Juliet