Amawulire

Namyalo asiibuludde abayiziba Yunivasite ez’enjawulo ne basaba Abasiraamu abalala

ABAYIZI ba yunivasite Abasiraamu abawala n’abalenzi baweereddwa amagezi okukozesa omwezi gw’ekisiibo kya Ramadhan omutuukuvu okwebuulirira bakomye okuganza abasajja abakulu n’abakyala abakulu olw’okuba baagala ssente ez’amangu.

Hajjati Namyalo ng’akwasa abayizi Abasiraamu eby’okusiibulukuka.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABAYIZI ba yunivasite Abasiraamu abawala n’abalenzi baweereddwa amagezi okukozesa omwezi gw’ekisiibo kya Ramadhan omutuukuvu okwebuulirira bakomye okuganza abasajja abakulu n’abakyala abakulu olw’okuba baagala ssente ez’amangu.
“Basiraamu bannange abakyali mu masomero njagala okubakakasa nti temulina kibapapya na kwettanira kuganza basajja bakulu mwe abawala ate abalenzi okuganza abakyala abakulu abalina ssente olw’okuba mwagala obulamu obulungi kyokka nga mwerabidde nti bw’omala okusoma n’oyita bulungi Allah n’akuteekako omukono gwe ogw’ekisa buli ky’obadde oyaayaanira, okifuna mu bungi n’okusinga ebyo abasajja abakulu oba abakyala abakulu bye baali bakulimba nabyo,” bwatyo akulira ofiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo bwe yategeezezza abayizi ba yunivasite ez’enjawulo mu Kampala bwe yabadde agenze okutwalira eby’okusiibulukuka.
Namyalo ku Mmande yasiibye atalaaga yunivasite z’omu Kampala zonna ng’asiibulula abayizi Abasiraamu ng’abawa ebintu omuli omuceere, sukaali, butto, engaano, emigaati ne kalonda omulala nga yatandikidde ku yunivasite y’e Kyambogo, MUBS e Nakawa, IUIU e Kibuli, KIU e Kasanga ne Kampala University esangibwa e Ggaba.
Namyalo yawadde abayizi bano amagezi nti balina okukomya okutambuliza obulamu bwabwe mu ngeri ey’okuvuganya nga kino ba14sobola okukikola nga beebuulirira mu mitima gyabwe naddala nga bakozesa ekiseera kino eky’ekisiibo.
Ku yunivasite y’e Kyambogo, Namyalo ebintu yabibakwasirizza ku muzikiti gwa Masjid Aisha, gye yavudde n’agenda ku MUBS ku masjid Noor n’adda ku IUIU , KIU n’amalira ku KU e Gaba.
Akulira abayizi abasiraamu mu yunivasite ya MUBS , Isma Walakira era nga y’amyuka katikkiro w’olukiiko olukulira abayizi ku yunivasite eno, yasabye buli Musiraamu alina obusobozi okulabira ku Hajat Namyalo mu kusiibulula bannaabwe. Walakira yeebazizza Pulezidenti Museveni okulowooza ku Basiraamu n’alonda Hajjat Namyalo mu kifo eky’obuvunaanyizibwa okukulira ofiisi ye nga ssentebe wa NRM mu ggwanga.
Aisha Nakawooya avunaanyizibwa ku nsonga z’abayizi ye yayogedde ku lwa yunivasite ya IUIU ate dayirekita wa yunivasite ya KU e Ggaba, Rashid Katerega yasabye abayizi okugumikiriza bye bayitamu nga basoma

Tags: