Amawulire

Gavumenti yeeyamye okuyambako abatikkirwa okufuna emirimu

GAVUMENTI yeeyamye okuwanirira abayizi abatikkirwa okufuna emirimu ng’eyita mu nteekateeka zaayo ez’enjawulo okuli eya ‘Graduate Volunteerism’.

Gavumenti yeeyamye okuyambako abatikkirwa okufuna emirimu
By: Jackson Ssewannyana, Journalists @New Vision

GAVUMENTI yeeyamye okuwanirira abayizi abatikkirwa okufuna emirimu ng’eyita mu nteekateeka zaayo ez’enjawulo okuli eya ‘Graduate Volunteerism’.

 

Mu nkola eno babateeka mu bitongole bya gavumenti n’ebyobwannakyewa ebitali bimu ne batandikira omwo obuweereza. Balinawo n’enteekateeka mwe batendekera abantu nga bwe bakola eya ‘On job training’, PDM n’ebirala.

 

Bino bibadde mu bubaka bwa minisita w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo, Janet Kataha Museveni bwe yatisse minisita w’ebyenjigiriza ebisookerwako, Dr. Joyce Moriku Kaducu ku matikkira ga yunivasite y’e Makerere ag’omulundi ogw’e 76 agaatandise eggulo ku Lwokubiri.

 

Yagambye nti, nga Gavumenti bakimanyi nti, emirimu mitono n’olwekyo bakubiriza abatikkirwa okukozesa amagezi ge bafuna mu ngeri ey’obuyiiya naddala nga bayita mu kwetonderawo emirimu.

 

Ku bayizi abaatikkiddwa eggulo, kuliko abaakuguse mu bya kompyuta ne tekinologiya, abasomesa, abakuguse mu by’amateeka, eby’obulambuzi, ebyobulimi n’obulunzi, n’abalala.

 

Abayizi abagenda okutikkirwa omwaka guno bali 9,295. Amyuka cansala wa yunivasite y’e Makerere, Polof. Barnabas Nawangwe yagambye nti, ku bayizi abo, kuliko abawala 4,262 n’abalenzi 5,033.

 

Abayizi 213 be bagenda okutikkirwa diguli eyookusatu, era nga guno gwe muwendo ogukyasinze okubeera omunene mu byafaayo bya Makerere. Abayizi 2,503 be bagenda okufuna ddiguli eyookubiri, 6,343 bafune esooka, ate 30 baweebwe dipulooma.


 
Cansala wa yunivasite y’e Makerere, Dr. Crispus Kiyonga yakakasizza diguli z’abayizi bano, n’abakubiriza abanaabeera bafunye emirimu okwekaliriza embeera n’enkola y’oku mirimu wamu n’okubeera abawulize.

 

Yabasabye n’okukwatagana ne bannaabwe baleete ebirowoozo ebivaamu obuyiiya n’okukola bizinensi oba ebintu ebitundibwa.

Tags:
Amawulire
Gavumenti
Batikkirwa
Matikkira