Amawulire

Ekkanisa y’e Ntebe egguddwaawo Pulezidenti n’akuutira Abakristaayo ku nteekateeka za Gavt. ez’okwekulaakulanya

OMULABIRIZI we Namirembe Moses Banja agguddewo Ekkanisa ya St Johns e Ntebe ewemmense obuwumbi obusobamu 5.8 wamu n’okutuuza omusumba waayo Rev Canon Rocky Sendegeya.

Bp. Banja ng’alaga Abakristaayo omusumba w’ekkanisa ya St Johns Parish e Ntebe, Rev Can Rockie Ssendegeya ne mukyala we. Emabega mu kyenvu ku ddyo ye Katikkiro Nabbanja.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMULABIRIZI we Namirembe Moses Banja agguddewo Ekkanisa ya St Johns e Ntebe ewemmense obuwumbi obusobamu 5.8 wamu n’okutuuza omusumba waayo Rev Canon Rocky Sendegeya. Omukolo gwetabiddwaako Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja eyakiikiridde Pulezidenti Yoweri Museveni era nga ye yabadde omugenyi omukulu.
Bp. Banja yataddeko abaana 100 emikono n’asaba abazadde okuwa abayima b’abaana bano omukisa okubakuza mu ddiini basobole okuba n’empisa n’okumanya Katonda kubanga abaana bangi bakula tebalina mpisa ate nga tebamanyi Katonda ky’agambye nti kikyamu nnyo .
Yasabye abassiddwako emikono okusoma Bayibuli n’okusaba buli kiseera Katonda asobole okubayamba ate kibayambe okwongera okumutegeera. Yeebazizza Abakristaayo wamu ne Pulezidenti Museveni olw’okubayamba okuzimba ekkanisa eno kubanga ekkanisa enkadde ebadde ntono nnyo nga temala.
Yatuuzizza omusumba w’ekkanisa eno Rev. Can. Rockie Ssendegeya n’amusaba okukumaakuma abantu mu kkanisa eno ate essira aliteeke mu kubuulira enjiri erokola abantu.
Omusumba Rev. Canon Rockie Ssendegeya yasuubizza okukola ennyo ateekewo ensawo evaamu ensimbi ezisobola okuyamba abantu nga babawola ensimbi , okuzimba bbugwe okwetoolola ekkanisa n’okwongera amaanyi mu Mother’s Union wamu ne Father’s Union bisobole okwongera okukulaakulana.
Katikkiro Nabbanja mu bubaka obwamutikkiddwa Pulezidenti yasiimye omulimu omulungi ogukoleddwa okuzimba ekkanisa eno gye yagambye nti erabisa bulungi munisipaali y’e Ntebe naye n’abasaba okwerwanako okumalawo obwavu nga beenyigira mu nteekateeka za Gavumenti okuli DPM, Emyooga n’endala ate bettanire nnyo okulima emmere ate bafisse ey’okutunda okusobola okufuna ensimbi

Tags: