Amawulire

Muteesa I Royal University etikkidde 590

ABAYIZI 590 baatikkiddwa diguli, dipuloma ne satifikeeti ku Muteesa I Royal University.Omukolo gwabaddewo ku Lwomukaaga ku ttabi lya yunivasite eno ekkulu e Kirumba - Masaka ne balabulwa okwewala obuli bw’enguzi. Cansala wa yunivasite y’Obwakabaka eno, era nga mulamuzi wa Kkooti y’Ensi yonna, Julia Nassanga Ssebutinde ye yabalabudde ng’abatikkira.

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga (wakati) n’omulamuzi Julia Ssebutinde ku mukolo gw’okutikkira abayizi ba Muteesa I Royal University e Masaka.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABAYIZI 590 baatikkiddwa diguli, dipuloma ne satifikeeti ku Muteesa I Royal University.
Omukolo gwabaddewo ku Lwomukaaga ku ttabi lya yunivasite eno ekkulu e Kirumba - Masaka ne balabulwa okwewala obuli bw’enguzi. Cansala wa yunivasite y’Obwakabaka eno, era nga mulamuzi wa Kkooti y’Ensi yonna, Julia Nassanga Ssebutinde ye yabalabudde ng’abatikkira.
“Mu kiseera kino, obuntubulamu bubuze era tebukyalabika mu bintu bingi mu nsi yaffe. Mwewale okuteeka ku bbali obuntubulamu bwe muyigiriziddwa ku yunivasite eno,” Ssebutinde bwe yabakuutidde n’abasaba obutaggwaamu maanyi olw’ebbula ly’emirimu. Yabawadde amagezi okukozesa obukodyo bwe bafunye ku yunivasite, balowooze ku bintu omuva ssente bye basobola okukola nga bwe balinda emirimu gye basomeredde.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga eyabadde omugenyi ow’enjawulo, yasabye abaatikkiddwa okwolesa omutindo mu bye bagenda okukola lwe banaasobola okukuuma emirimu gye banaafuna. Yeebazizza obukulembeze bwa yunivasite eno olw'omulimu ogukoleddwa mu kugiteeka ku mutindo mu bizimbe n'ebyenjigiriza.
Polof. Akuno eyabadde omwogezi ow’enjawulo, yawadde abayizi amagezi okunoonya n’okukola emirimu nga bamanyi bulungi ebibakwatako okuli obusobozi n’embeera zaabwe ez’obuntu, basobole okugya gye bagenda.
Abayizi abaasinze bannaabwe okuli; Nkalubo Swaibu Muyingo (diguli mu by’empuliziganya ne tekinologiya), Edward Ntulume (diguli mu bizinensi) ne Gloria Atuhura eyafunye diguli mu busomesa bw’abaana abato baaweereddwa ebirabo n’ebbaasa ya 500,000/- okubasiima.

Tags: