KKOOTI ewadde olwa March 3, 2026 ng’oludda oluwaabi luwaddeyo obujulizi bwonna obugenda okweyambisibwa mu musango gwa Dr. Kiiza Besigye ne banne bwe bali ku musango gw’okulya mu nsi olukwe.
Bino byabadde mu kkooti y’omulamuzi Emmanuel Baguma owa Kkooti Enkulu, Besigye, Hajji Obed Lutale n’omujaasi wa UPDF, Capt. Denish Oola bwe baabadde baleeteddwa oluvannyuma lw’emyezi 2 bukya bakoma kulabikako mu kkooti.
Besigye ne banne baatuuse ku kkooti ku ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu, ne bayingizibwa mu bwangu mu kkooti eyabadde ejjudde bannabyabufuzi, abooluganda n’emikwano.
Kkooti yamaze essaawa emu n’ekitundu nga bannamateeka ba Besigye abaakulembeddwa Munnakenya Martha Karua bawakana n’abooludda oluwaabi abaakulembeddwa Thomas Jatiko ku nsonga z’obujulizi.
Omuwaabi wa Gavumenti Jatiko yategeezezza nga bwe waliwo obumu ku bujulizi bwe baawadde oludda oluwawaabirwa omuli sitetimenti, amaloboozi nti naye tebannabumalayo nga bakyalina ebyuma ebyakozesebwa mu kuzza omusango bye bakyayagala okufuna, babiwe oludda oluwawaabirwa era nga kino balina kukikola ku Lwokubiri lwa wiiki ejja nga March 3, 2026.
Wabula kino munnamateeka wa Besigye, Erias Lukwago yakiwakanyizza n’agamba nti babadde baagala oludda oluwaabi lubawe obujulizi bwonna bwe bagenda okwesigamako mu musango guno kubanga mu nsala ya kkooti eyaliwo nga December 30, 2025 baalagirwa okubuwaayo nga January 21, 2026 ne balemwa.
Lukwago yagambye nti, kirabika oludda oluwaabi lwagala kulwisa kuwulira musango guno ate ng’embeera y’obulamu bwa Besigye si nnungi ate nga kkooti yagaana okumuyimbula ku kakalu kaayo.
Wabula Jatiko yeewozezzaako nti kkooti teyisangako kiragiro kino wabula bo be baagitegeezaako nti bajja kubaako obujulizi bwe bawa oludda oluwawaabirwa nga January 21, 2026.
Omulamuzi Baguma yalagidde oludda oluwaabi okuwaayo obujulizi bwonna nga March 03, 2026 olwo kkooti eddemu nga March 12, 2026