KATIKKIRO wa Uganda, Robinah Nabbanja, asiimye abakulembeze ba disitulikiti y’e Kyankwanzi nga bakulembeddwa ssentebe waayo Dr. John Mpuuga, olw’omutindo gw’ebyobulamu gwe batadde mu kitundu.
Katikkiro Nabbanja, yabadde asimba ejjinja ku ddwaaliro lya gavumenti ery’omulembe erya Bikoma Health center III eryazimbiddwa mu kitundu mu ggombolola y’e Butemba mu Kyankwanzi, n’asiima Mpuuga okulwanirira ebyobulamu.
Dr. Ruth Aceng, Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga, asuubizza nti gavumenti yaakazimba amalwaliro ga Health Center III mu buli ggombolola mu ggwanga, nga kati gaakazimbibwa ebitundu 60 ku 100 mu ggwanga lyonna.
Yategeezezza nti, bakola ekisoboka okwongera okuzimba amalwaliro bwegati buli ggombolola mu ggwanga lyonna.
Sssentebe wa disitulikiti y’e Kyankwanzi Dr. John Mpuuga yeebazizza katikkiro Nabbanja okufaayo ku muntu wa bulijjong’atambula mu bitundu eby’anjawulo.
Baasimbye ejjinja ku ddwaaliro, era omukolo gwetabiddwaako abantu bangi okuva mu bitundu eby’enjawulo mu Kyankwanzi n’emiriraano.
Dr. Mpuuga agambye nti, bateeka pulogulaamu za gavumenti zonna mu nkola omuli; PDM n’emyooga nti naye abantu tebasobola kwekulaakulanya nga balwadde, y’ensonga lwaki atadde essira ku byobulamu okubeera ebirungi abantu babeere balamu.