Museveni asiimye ababaka

PULEZIDENTI Museveni ayozaayozezza ababaka ba Palamenti abaayambye eggwanga ne bayisa etteeka lya UPDF eryazzizzaawo kkooti z’amagye ezigenda okuwozesaabantu ba bulijjo abakozesa ebyokulwanyisa okumalako abalala emirembe.

Abamu ku bakulembeze b’e Luweero nga basanyukira Museveni.
NewVision Reporter
@NewVision

PULEZIDENTI Museveni ayozaayozezza ababaka ba Palamenti abaayambye eggwanga ne bayisa etteeka lya UPDF eryazzizzaawo kkooti z’amagye ezigenda okuwozesa
abantu ba bulijjo abakozesa ebyokulwanyisa okumalako abalala emirembe.
Yasabye ababadde mu nsobi eyo okwenenya kuba baabadde baleese ekizibu ky'okukoonaganya amagye, Palamenti n'ekitongole ekiramuzi.
Yasinzidde ku Timunah Schools mu Luweero ng'asisinkanye abakulembeze okuva mu Luweero, Nakaseke ne Nakasongola n'agamba bwe baava mu nsiko nga ow’amagye akozesezza emmundu okutemula bamubonereza mu ngeri y’amagye ekigakuumye
nga kino ate kye bawakanya.
"Tulina amagye ga maanyi era temugazannyirako mugeenenye. Ensi ezitwetoolodde zirina ebyobugagagga naye tezirina ddembe abantu bali mu ddukadduka ne bajja wano ng'abanoonyib'obubudamu. Mumanye obukulu bw'eddembe kuba we litali teri kitambula," bwe yagambye. Yasabye abantu okwewala ebyobufuzi by'okwawula mu ddiini n'amawanga kuba bye byavaako obuzibu abantu ne batafa ku
busobozi bwa muntu. Amagye aga maanyi yagambye nti gavuddemu eddembe eriri mu ggwanga.
MULOWOOZE KUKUKOLA OBUGAGGA
Museveni yawadde abantu amagezi okwemalira ku kukola obugagga nga banyweza ennyingiza y'amaka.
Yabasomesezza ku nkola ya ‘4 acre model’ eri abalina ettaka ettono okukola obugagga ne bafuna ssente okusinga abettanidde ebyobufuzi n'emirimu gya Gavumenti ne bakosa abantu abalala.
Museveni yagambye nti bazimbye amakokero agawadde Bannayuganda akakadde kamu
n'ekitundu emirimu. Ku byenjigiriza, yagambye nti ng'okulonda kuwedde, baakulaba engeri abazadde gye bayambako okukuumira abaana mu masomero nga babasasulira ekyemisana kuba kati batumbuse mu by'enfuna.
Ssabawandiisi wa NRM  Richard Todwong yagambye nti NRM yakola bubi nnyo mu kulonda okwayita mu kitundu kino kwe kuleeta abakulembeze mu disitulikiti za Greater Luweero bagonjoole awaava obuzibu. Ssentebe wa NRM mu Buganda,
Godfrey Kiwanda Ssuubi yagambye nti Emyooga, PDM, enguudo ezikoleddwa n'ebirala
bizzizza abantu emitima.
Kyokka yasabye yasabye olukiiko lwa NRM olw’oku ntikko okugonjoola ekizibu ky’abawangulwa mu kamyufu okukomawo ne bannakibiina
abangi ekiwa ab'oludda oluvuganya omukisa okubamegga.

Login to begin your journey to our premium content