PULEZIDENTI Museveni asabye amawanga g’omu Buvanjuba bwa Africa okunyweza enkolagana nti, eyo y’engeri yokka gye gasobola okukulaakulana n’okunyweza ebyokwerinda.
Bino Pulezidenti Museveni eyabadde ne mukyala we Janet Museveni yabyogedde aggulawo olukung’aana lwa Baminisita ab’ebyenjigiriza eby’amatendekero aga waggulu olwatuumiddwa ‘East African Community Common Higher Education Area (EACCHEA)’ n’awa ensonga 5 lwaki okwegatta kw’amawanga ag’Obuvanjubwa
bwa Afrika okuli: Uganda, Kenya, y’ensonga lwaki ekibiina ekyo kikung’aanya abantu bonna awatali kufaayo ku mawanga, langi oba endabika yaabwe.
Yasabye beebyenjigiriza okussa essira ku nsonga eno kiyambe okuzimba obwamwoyo gwa ggwanga n’obwasseruganda okuviira ddala mu masomero n’amatendekero. Mukyala Museveni era nga ye Minisita w’ebyenjigiriza yagambye nti, olukung’aana luno lwe lusookedde ddala baminisita ab’amatendekero aga waggulu mu mawanga aga East Africa okutuusa okuteesa ku nsonga ez’ebyenjigiriza.
Yagambye nti, olukung’aana luno we lunnaggweera amawanga aga East Africa gagenda kuba nga gattaanyizza ebintu bingi ebyekwata ku byenjigiriza eby’amatendekero aga waggulu. Akulira ekitongole ekya ational Council for Higher Education (NCHE) Prof. Mary J.N Okwakol yasiimye Pulezidenti Museveni ne Mukyala Museveni olw’obuwagizi bwe bawadde mu uteekateeka olukung’aana luno .
Tanzania, Rwanda, Burundi ne South Sudan kwetaagisa.
Ensonga ettaano ze yawadde uliko: enkulaakulana, ebyokwerinda, demokulasiya, okukyusa embeera z’abantu, n’obwasseruganda bye yagambye nti, bino gwe musingi ogulina okuzimbibwako okwegatta kw’amawanga agali mu mukago ogwa East Africa.
Engeri yokka ey’okutuuka ku nkulaakulana ye buli famire, oba ekitongole, oba butafuna ssente era n’ensi teyinza butakulaakulana,” Museveni bwe
yagambye.
Yagasseeko nti, okwegatta kw’amawanga kiyamba kinene mu
kugaziga obutale ebintu ebikolebwa oba okulimwa mu mawanga ago mwe bisobola okutundibwa, awo enkulaakulana n’ebeerawo wabula yalabudde nti, bino okutambula obulungi, amawanga gateekwa okwewala ebyobufuzi ebyawulayawula mu bantu.
Yagambye nti, ebyobufuzi ekika ekyo NRM tebyagala era tebikola