ABA TTAKISI basse omukago n’aba bodaboda ne bakkiiriziganya okukolera awamu okwegobako obwavu.
Bino byatuukiddwaako mu lukung’aana lwe baatuuzizza ku Hotel Africana mu Kampala.
Abattakisi baakulembeddwa ssentebe w’ekibiina ekibagatta mu ggwanga ekya Federation of Uganda Taxi Operators (UTOF) Hajji Rashid Ssekindi ate aba bodaboda baakulembeddwa ssentebe w’ekibiina ekibagatta mu ggwanga ekya United of Boda Boda Riders Cooperative Union, Frank Mawejje. Mu kutongoza enkolagana eno, Ssekindi yatenderezza obukulembeze bw’aba bodaboda n’agamba nti mu bbanga ettono Union ng’etandikiddwaawo, evuddemu ebibala bingi aba bodaboda bye batandise okuganyulwamu ng’okufuna ettaka kwe bagenda okubazimbira amayumba bagasasule
mu kibanja mpola, pikipiki ez’omulembe nazo nga za kibanja mpola n’ebirungi ebirala bingi.
Yagambye nti eno y’ensonga lwaki yanoonya abakulembeze b’aba bodaboda basale
amagezi ku ngeri n’abatakisi b’akulembera gye basobola okuganyulwa mu nteekateeka
efaanana bweti.
Yagambye nti enkolagana eno keetandikiddwaawo, mumativu nti obwasseruganda bunobugenda kuganyula nnyo abantu bonna abali mu mulimu gw’okutambuza
abantu omuli aba takisi ne bodaboda.
Ssentebe wa bodaboda Union, Frank Mawejje yagambye nti olw’omukago guno ogwatandikiddwaawo, byonna Union by’ebadde ekola egenda kubikoleram wamu ne UTOF kibasobozese bonna okwekulaakulanya. Yagambye nti Union erina enkolagana ne kampuni ez’enjawulo ezibawa bodaboda ku kibanja mpola kyokka nga kampuni ze zimu
zikola ne ku mmotoka nga singa wabaawo okukkaanya, n’abavuzi ba ttakisi basobola okufuna emmotoka ku kibanja mpola olwo nabo ne batandika okuvuga emmotoka ezaabwe nga bwekiri ku pikipiki. Yayongeddeko nti ku ttaka aba Union lye baafuna, baakwatagana dda ne kampuni ezigenda okubazimbirako amayumba, ng’enteekateeka yeemu n’aba takisi basobola okugyettanira ne baganyulwamu Fred Ssenoga omuwi
w’amagezi mu Union, yategezeeza nti singa aba ttakisi ne Bodaboda bakozesa omuwendo gw’abantu be balina omunene mu ggwanga, basobola okufuna obugagga obutagambika