Empapula ezitaliiko stamp zigobezza Kaana ka Mbaata ku office z'akakiiko k'ebyokulonda e Wakiso

Johnbosco Sserunkuuma amanyiddwa nga Kaana Ka Mbaata olw'aleero tasunsuddwa oluvannyuma lw'okufuumuulwa mu kakiiko k'ebyokulonda e Wakiso ng'ebiwandiiko bye bibulako stamp.  

Johnbosco Sserunkuuma ng'ali mu office z'akakiiko k'ebyokulonda e Wakiso
By Kiragga Steven
Journalists @New Vision
 
Johnbosco Sserunkuuma amanyiddwa nga Kaana Ka Mbaata olw'aleero tasunsuddwa oluvannyuma lw'okufuumuulwa mu kakiiko k'ebyokulonda e Wakiso ng'ebiwandiiko bye bibulako stamp. 
Ono agobeddwa ne bamugamba addeyo atereeze ebintu bye bwatyo n'atasunsulwa.
Abawagizi ba Nsubuga nga bajaganya oluvannyuma lw'okusunsulwa

Abawagizi ba Nsubuga nga bajaganya oluvannyuma lw'okusunsulwa

Mu basunsuddwa leero kubaddeko mmeeya wa munisipaali ye Nansana Reginah Bakitte nga azze ku bwa namunigina oluvanyuma lwa NUP okumumma kaadi, Hamidu Nsubuga Kizito akwatidde NRM bendera era ng'ono olumaze okusunsulwa abawagizi be ne batandika okusagambiza n'ategeeza nga bw'agenda okukola obutaweera naddala okutereeza eby'obulamu