Muky. M7 awadde abafumbo obukodyo bw'okunyweza amaka
May 24, 2024
Mukyala wa Pulezidenti Yoweri Museveni, Janat Kataha Museveni akubirizza amaka okuteeka essira ku nkuza y'abaana n'engunjula yaabwe gy'agamba nti kwekesigamye empisa y'amaka amagumu.
Nnankulu wa KCCA Dorothy Kisaka, bannadiini ssaako n'abantu ab'enjawulo
Mukyala wa Pulezidenti Yoweri Museveni, Janat Kataha Museveni akubirizza amaka okuteeka essira ku nkuza y'abaana n'engunjula yaabwe gy'agamba nti kwekesigamye empisa y'amaka amagumu.
Mu bubakabwe bw'atisse akulira abakozi mu kitongole kya KCCA, Dorothy Kisaka mu lukungaana lw'abafumbo olutegekeddwa ab'ekibiina kya Bible Society of Uganda, ku woteeri ku Africana, mukyala Museveni alaze obukulu obuli mu kukuza abaana omuli abazaalibwa mu maka wamu naabo be bayola nga bazaaliddwa abantu abatali ba waka.
Wadde nga mu maka mubaamu ebisomooza ku buli ludda, Muky.Museveni asabye Abaami n'Abakyala, okulembeza okusonyiwa singa wabaawo asobezza.
Nnankulu wa KCCA Dorothy Kisaka ng'abuuza ku mulamuzi Micheal Kibita
Ategeezezza nti buno bwebumi ku bukodyo obumuyambye mu bufumbo mw'amaze kati emyaka 50.
Ssaabasumba wa Kampala, Paul Ssemwogerere naye yeetabye ku mukolo guno bw'atyo n'akubiriza Abakulisitu okuba abeesigwa mu bufumbo bwabwe kiyambe okuzimba eggwanga eriggumidde.
Mu bikonge ebirala ebyetabye ku mukolo guno kubaddeko abakulembeze b'amakanisa ag'enjawulo, Omulamuzi Mike Chibita, Paul Boston, Rev. Canon Rebecca Nyegenye, Prof. Alfred Oliwa, Dr. Evas Atwine, Bisoopu Simon Peter Emiau, Prof. Ezra Suruma, n'abalala
No Comment