Sheikh Hamidu Tamusuza, omu ku ba Imaam mu ttwale ly’e Nangabo yasinzidde ku Duwa y’omugenzi Alima Namagembe eyali omutuuze w’e Busukuma mu disitulikiti y’e Wakiso , yategeezezza nti buli lw’okola ekirungi eri abalala ne bw’oba ofudde tebasobola kukwerabira.
Sheikh Tamusuza ng'ayogera.
Yagasseeko n’asaba palamenti okuvaayo mu bwangu okussaawo etteeka ku bantu abatandise okusosolegana mu mawanga kye yagambye nti kiyinza okuvaako obutabanguko mu ggwanga abantu ne batandika okutemagana.
Omulangira Herbert Kimbugwe, ssentebe wa LC II mu muluka gw’e Komamboga omu ku baana b’omugenzi yavumiridde eky’abantu abavudde ku nnono ne batuuka n’okusanyuka nga waliwo afudde.