Omuyimbi Daudi Mugema aziikibwa leero

ABA ffamire y’omuyimbi Daudi Mugema eyayimba ‘Katonda w’abanaku teyeebaka’ bakyali mu ntiisa olw’engeri omuntu waabwe gye yafuddemu.

Mugema
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABA ffamire y’omuyimbi Daudi Mugema eyayimba ‘Katonda w’abanaku teyeebaka’ bakyali mu ntiisa olw’engeri omuntu waabwe gye yafuddemu.
Mugema yasangiddwa mu loogi e Gulu ng’afudde. Yabadde agenze kulaba Gen. Salim Saleh ng’ayagala amuyambeko okutegeka ekivvulu kye ekibadde eky’okubaawo mu August. Maama wa Mugema, Ruth Nannyanzi eyasangiddwa ku kyalo Kyampagi, yagambye nti mutabani we y’abadde amuwa buli kimu era okufa kwe kwamukubye wala.
Nannyanzi yategeezezza nti Mugema w’afiiridde ng’ateekateeka kumuzimbira era abadde yagula amabaati n’agamuteresa, wabula ate awo we yalwalira ekigere.
Yagambye nti yayogeddeko naye ku Lwokukaaga n’amusuubiza okugenda okumulabako, ekitatuukiridde.
Mugema yasimbudde e Kampala ku Ssande nga yasoose kuyimba mu kivvulu e Mukono era ye yeevuze okugenda e Gulu, n’asangibwa ng’afiiridde mu loogi ku Lwokubiri.
Mukulu wa Mugema, Betty Namugerwa yagambye nti yasembye okwogera naye ng'atuuse bulungi e Gulu n'agenda mu loogi we yabadde alina okusula kyokka amawulire ge yazzeeko okufuna gaabadde gakumubikira.
Mukwano gwe, Jalia Mukisa yagambye nti omugenzi yalwalako okugulu ne bamusondera ssente n’agenda e Turkey ne bamujjanjaba n’awona, wabula nti gye buvuddeko yabategeeza nga bw’alina obulwadde bwa nnamusuna.
Mugema yafulumyako oluyimba lw'ebyobufuzi olugamba nti ‘Mzee Wamula’ n’akwatibwa abeebyokwerinda. Yayimbirako mu Kream Production ekya Haruna Mubiru, oluvannyuma ne baawukana n'atandika okuyimba yekka.
Waakuziikibwa leero ku kyalo Kyampagi mu tawuni kkanso y’e Kasaali mu Kyotera mu maka ga kitaawe.