Omulyoyi w’emyoyo gy’abayizi n’abakozi mu Makerere University Business School Nakawa (MUBS), Msgr. Dr. Lawrence Ssemusu ajaguzza eyaka 45 mu Busaserdooti, emyaka 70 egy’obukulu, n’emyaka 21 gy’amaze ng’akola ng’omulyoyi w’emyoyo gy’abayizi n’abakozi mu ssettendekero ono.
Emikolo gy’atandise ne mmisa Msgr. Ssemusu gyeyayimbidde mu Klezia ya Padre Pio Omutuukirivu, mu MUBS e Nakawa, ku Lwomukaaga nga October 4. Y’agyisomye n’abamu ku Basaserdooti beyasoma nabo, okwabadde Msgr. John Waynand Katende, Fr. Charles Ssengendo, ne Faaza Achilles Kiwanuka akolera mu ssaza ly’e Kiyinda-Mityana, n’Abasaserdooti abalala abaasobye mu 30.
MSGR Semusu nga basala cake
Abantu ab’enjawulo baatenderezza Msgr. Ssemusu olw’emirimu egy’ettendo gy’akoledde Klezia n’eggwanga.
Omumyuka wa Katikkiro, Robert Wagwa Nsibirwa (eyabadde omugenyi omukulu) Msgr. Ssemusu y’amwogeddeko nga Omusaserdooti omukozi, omumalirivu, ate ayagala ennyo Klezia, ekika kye ely’Envuma, Buganda ne Uganda.
“Twebaza Katonda olw’obulamu n’obuweereza bwa Msgr. Ssemusu. Tumusiima olw’okwagala Katonda n’abantu be. Azimbye amasinzizo n’amasomero. Okukkiriza kwa akwolesezza mubigambo nemubikolwa,” Nsibirwa bweyategeezezza.
Y’asabye Bannauganda balabire ku Msgr. Ssemusu, nabo babeere n’omutima ogulumirwa abalala, era baweereze Katonda n’egwanga awatali kwesaasira.
Bweyabadde ayigiriza mu mmisa, naye Msgr. Ssemusu y’amw’ogeddeko bulungi.
Ebijaguzo
“Sseruganda Msgr. Lawrence Ssemusu, tukwebaza olw’okwagala Obusaserdooti. Obweyagaliddemu, era oli musanyufu. Naye kino ky’oli, nabyonna by’okoze, kibadde kisa, kwagala, n’obugabirizi bwa Katonda. Otuyambye okutegeera nti essanyu erijjuvu teriri mukwekungaanyiza bintu bingi, naye mukujuna abali mu bwetaavu. Ate era twongedde okumanya nti Katonda asobola okuyita omuntu yenna, okuva awantu wona, ate n’amukozesa eby’amaanyi,” Fr. Kiwanuka bweyategeezezza.
Rev. Fr. Anthony Aliddeki Musaala Msgr. Ssemusu y’amwogeddeko nga Omusaserdooti ajjudde okukkirizam era akolagana obulungi n’abantu, era nga n’ekirowoozo ky’okufuuka Omusaserdooti y’akijja kuye.
Spice Diana ng'asanyusa Msgr Ssemusu
Omuyimbi Spice Diana y’eebazizza Msgr. Ssemusu olw’okwagala bannabitone naddala abayimbi, wadde ng’abantu abamu babatwaala nga bakiwagi, abaamalala, abamala geeyisa batyo.
Msgr. Ssemusu yeebazizza abantu olw’okumwagala, n’okumuyamba okutuukiriza obutume bw. Y’anokoddeyo bazadde be, aba famire ye, Abakristu, abasomesa be mu ppulayimale ne Seminario, Basaserdooti banne, Abepiskoopi, nebakama be eyo gy’azze akolera.
Owek. Wagwa Nsibirwa y’atongozza ekitabo kya Msgr. Ssemusu kyeyatuumye From Banana Plantation to the Altar. Emikolo emirala kwabaddeko okutongoza kaweefube w’okusonda ensimbi z’okuzimba ekizmbe ky’abayizi eky’emyaliiro 7 (Cardinal Emmanuel Wamala Students Centre), okwaniriza abayizi abapya, n’okutongoza olukiiko oluddukanya MUBS Chaplaincy.
Ends.