Omuvubuka agambibwa okubba embuzi, bamutaayizza ne bamukuba emiggo egimusse.
Bibadde ku kyalo Bulube mu ggombolola y'e Ndolwa mu disitulikiti y'e Buyende, abantu bwe bakkakkanye ku Stephen Maduku 27 omutuuze w'e Bueaira ne bamukuba ne bamutta nga bamulumiriza okubba embuzi enkazi.
Kigambibwa nti embuzi abadde agibbye kuva ku kyalo Masete B era ng' abadde ayolekera mu katale ka Buyende cattle market ne bamusanga mu kkubo mwe bamukubidde ne bamutta.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, avumiridde ekikolwa ky'okutwalira amateeka mu ngalo n'agamba nti banoonyereza