Wabaddewo akasattiro, baliraanwa bwe balwanidde ensalosalo z'ebibanja omu n'akuba munne awabi, n'amutta.
Bino bibadde ku kyalo Kachuru mu ggombolola y'e Kachuru mu disitulikiti y'e Butebo, Sam Opolot gy'agambibwa okukkakkana ku muliraanwa we Fred Kirya n'amukuba omuggo n'amutta.
Kigambibwa nti Kirya yasoose kukuula mpaanyi olw'obutakkaanya obubaddewo ku bibanja byabwe nga n'ekyaddiridde kulwanagana.
Omu ku baabaddewo, Alex Kamwada, agambye nti, mu kulwanagana omu akubye munne omuggo n'adduka kiwalazima ne bamusanga ng'afiiridde mu nnyumba ye.
Omwogezi wa poliisi mu Bukedi North, Wilfred Kyempasa, ategeezezza nti, Opoloti bamukutte ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.