Amawulire

Minista Wilson Mbadi akubirizza bannayuganda okukozesa omukisa China gweyawadde Uganda

Minista Wilson Mbadi asabya bannayuganda bakozese omukisa China gwe yawa Uganda okutunda ebintu ebweru nga tebiliiko misolo.

Minisita Mbadi ng'ayogera ku media Center
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Frank Ssentongo 

Minista Wilson Mbadi asabya bannayuganda bakozese omukisa China gwe yawa Uganda okutunda ebintu ebweru nga tebiliiko misolo.

Mbadi ategeezezza nti guno omukisa gugenda kuyamba Uganda okwongera okugaziya ebuntu ebitundibwa ebweru w'eggwanga.

“ China yawa gavumenti omukisa gw’okutunda ebintu mu ggwanga lyabwe; Wabula yatekewo akakwakulizo nti baiyina okuba nga bitunkana n’omutindo era wano Mbadi wansinzidde n'asaba bannayuganda okkozesa omukisa guno basobole okugaziya ku nnyingiza yaabwe.

Mbaddi alambise nti mu mwaka 2024-2025; Uganda yayingiza 13.4 billion mu by’obusuubuzi, wabula yasasanya 19-18 billions mukugula ebintu okuva mu mawanga. Era minsita n’asaba nti ekitono ennyo buli maka gabeeko emirimu gye gatondawo 

Tags: