Minisitule y’ebyettaka ereese enkola ya digito okulondoola ebyapaMinisitule

MINISITULE y’ebyettaka egguddewo enkola ya digito ku mutimbagano abantu kwe bagenda okuyita okunoonya buli kikwata ku ttaka. Enkola eno eyatongozeddwa minisita omubeezi ow’ebyettaka, Sam Mayanja ku ofiisi z’ebyettaka e Wakiso, yagendereddwaamu okuggyawo babbulooka ababadde bakwataganya nnannyini kibanja ne minisitule.

Omuteesiteesi omukulu mu minisitule y’ebyettaka, Dorcas Okalany ng’aliko by’annyonnyola Minisita Mayanja.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MINISITULE y’ebyettaka egguddewo enkola ya digito ku mutimbagano abantu kwe bagenda okuyita okunoonya buli kikwata ku ttaka. Enkola eno eyatongozeddwa minisita omubeezi ow’ebyettaka, Sam Mayanja ku ofiisi z’ebyettaka e Wakiso, yagendereddwaamu okuggyawo babbulooka ababadde bakwataganya nnannyini kibanja ne minisitule.
Minisita Mayanja yategeezezza nti abantu babadde beemulugunya ku nguzi ebadde esusse ku ofiisi z’ebyettaka nga bangi basabibwa ssente ennyingi okukyusa ebyapa byabwe ssaako okwebuuza ku bikwata ku ttaka lyabwe.
“Emabegako najja e Wakiso ne nsanga nga ofiisi ecuuma era ne ndeeta abakozi abapya, nnasuubiza okukola enkyukakyuka mu ntambuza y’emirimu era nga tutandikidde ku kuteekawo enkola ya digito abantu kwe basobola okuyita okumanya ebikwata ku ttaka,” Mayanja bwe yayongeddeko.
Mayanja yagambye nti abantu bangi babadde basasula ssente eziyingira akakadde n’okusoba okubakolera ku nsonga zaabwe. Yagambye nti n’abanoonya ettaka ly’okugula bagenda kuba basobola okunoonyereza ebikwata ku ttaka lye bagula beewale babbulooka abababba.
Yasabye babbulooka okunoonya emirimu emirala kuba enkola eno egenda kuba terina we bateekeramu, kuba bangi babadde babinika abantu ssente nnyingi abamu ebyapa byabwe ne bituuka n’okubulira mu mikono gya babbulooka. 

Omuteesiteesi omukulu mu minisitule y’ebyettaka, Dorcas Okalany, yategeezezza nti enkola eno egenda kusembeza obuweereza kumpi eri abantu nga buli w’abeera asobola okunoonya ebikwata ku ttaka ly’ayagala. Okalany yagambye nti okucupula kw’ebyapa okubadde kukolebwa babbulooka kugenda kukomezebwa kuba nnannyini kyapa oba ettaka agenda kuba awuliziganya butereevu ne minisitule.
Agamba nti enkola eno yatongolezeddwa Wakiso, nti kyokka egenda kubuna mu ofiisi z’ebyettaka 22 eziri mu ggwanga.
Victor Lenin Oonyu, okuva mu National Land Information System yagambye nti abantu okubaako bye banoonya nga bayita ku mutimbagano, bagenda kuba basasula omutwalo gumu. Yagambye nti abantu bagenda kuyita ku https://ugnlis.mlhud.go.ug/ nga wano buli kye baagala okwebuuza ku ttaka bagenda kuba bakifuna n’okubalagirira bwe balina okutambuzaamu empapula z’ebiwandiiko byabwe.
“Enkola eno eyitibwa National Land Information System Online Portal and Mobile application era tusuubira nti abantu bonna bagenda kugiganyulwamu. Ekendeeza ku budde omuntu bwe yandimaze ng’agenda ku ofiisi z’ebyettaka.” Oonyu bwe yayongeddeko.