MINISITULE y’Ebyobulamu yaakwongera okubitumbula mu mbalirira y’omwaka ogujja.
Enteekateeka eno yayanjuddwa minisita Dr. Jane Ruth Acheng mu lukung’aana lwa minisitule olwagendereddwaamu okutumbula ebyobulamu n’okuziyiza endwadde
mu bitundu by’omu byalo.
Olukung’aana luno lwabadde ku Speke Resort Munyonyo. Acheng yategeezezza nti kyasaliddwaawo nti mu mbalirira y’omwaka ogujja y’Ebyobulamu egenda kubeera n’enteekateeka ya buwumbi 2 mu nsawo y’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusomesa wamu n’okutumbula ebyobulamu ziyambeko okutumbula ebyobulamu
ku mutendera gw’ekyalo okulaba nga omuwendo gw’abasawo gweyongera
wamu n’okubabangula.
Agamba mu mbeera y’emu abasawo bajja kuba n’ensako yaabwe eya buli mwezi nga baakuweebwa emitwalo 15 zibayambeko mu nzirukanya yaabwe ey’emirimu
nga akasiimo. Yategeezezza nti essaawa eno baakabangulako abasawo mu miruka 17 mu
disitulikiti ez’enjawulo wabula nga bagenderedde kubangula abasawo mu miruka 35 buli mwaka. Akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusomesa wamu n’okutumbula ebyobulamu mu minisitule eno, Richard Kabanda yategeezezza nti Katikkiro Robinah Nabbanja yabawadde emyaka 3 okubangula abasawo buli muluka gubeere waakiri n’abasawo babiri