MINISITA omubeezi owa tekinologiya mu gavumenti eyawakati Joyce Nabbosa Ssebuggwawo alagidde abantu abakyalindisiddwa okufuna ssente z’okwekulakulanya ez’okumiruka,bakwate emiggo bagende eri abo abazirina bababuuze lwaki bakyagaanye okuzibawa b’ekulakulanye.
Nabbosa agamba nti omutawaana oguli mu bantu baawano guli nti tebaagala kutawaana ng’ate buli muntu ali obulungi atawanira ssente bwatyo n’abasaba batawaaneko bagende banoone ssente ku miruka baggyeyo ssente gavumenti zeyateekayo kubanga ziri eyo zifa tulo.
“Mugende ku disitulikiti n’emiggo mubagambe nti tuddukidde ssente zaffe,lwaki tebazimanyi kubanga gyeziri baazireeta,bwemutaakole ekyo mujja kufa obwavu ng’ate nze saagala kulaba bantu bange nga babonabona ng’ate ssente za gavumenti weziri,”Nabbosa bweyakunze abantu okwetanira ensimbi za Parish Development Model.
Okwogera bino yasinzidde ku butaka bw’ekika ky’endiga obusangibwa e Mbaale mu ggombolola Mutuba I Mpigi mu ssaza ly’e Mawokota ku Lwomukaaga March 18, 2023 n’akunga abantu okwefunira ku nsimbi zino kyokka nebamutegeza nti gy’abagamba okuzinoona babagamba nti tezinatuuka!
Omukulu w’ekika kino,Omutaka Ying.Daniel Bbosa Lwommwa yasinzidde ku mukolo guno kweyayanjuliddwa engabo y’ebika by’Abaganda n’atongoza oluyimba lw’ekika kino oluyitibwa Nnyabo Nabbosa nga lwayiyiziddwa Eria Lwasi Buzaabo ng’ebigambo byalongoosebwamu Robert Nviiri omukiise mu Lukiiko lwa Buganda olukulu ate eddoboozi lyayiiyizibwa n’okuyimbibwa Ssaalongo Ntwatwa Musoke.
Mu ngeri y’emu, Lwommwa yazizza buggya olukiiko lwe olukulembze nga lukulemberwa Edward Ssemukuutu nga Katikkiro ng’ono ye nampala nga yavunanyizibwa ku by’ennono ng’agenda kumyukibwa Lwasi Buzaabo era avunanyizibwa entambuza y’emirimu n’enkulakulana.
Christopher Kalyesubula ye mukubiriza w’olukiiko lw’ekika ng’amyukibwa John Ssebwato,Omuwandiisi ye Nviiri ng’amyukibwa Badru Kiyingi, Justine Namitala y’atwala abakyala n’emizannyo ate Omuwanika ye Badru Kiguli ng’amyukibwa Lawrence Kasacca Lutalo. Steven Sserunkuma yalondeddwa ng’atwalaebyamawulire,Paul Kiyingi Luwombo y’atwala okukunga abazzukkulu, Yusuf Kabaale ye waguno naguli era omuwandiisi w’abamasiga.
Lwasi ku lwa banne yeyamye okutwala obuvunanyizibwa obubawereddwa okulaba ng’emirimu gy’ekika gyeyongera okutambulira ku sipiidi era n’asaba abazzukkulu okuwagira enteekateeka zonna zebanabanjuliranga.