MINISITA omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja annyonnyodde engeri enkola y’okubeera ne Mailo n’ekibanja gye byajja mu Buganda nga biva mu ndagaano ya 1900, gy’agamba nti yavaamu ebirumira ebikyanyiga Buganda ne Uganda okutwaliza awamu okutuusa olwaleero. Dr. Mayanja yasinzidde ku pulogulaamu ‘Mugobansonga Special’ ku Bukedde Fa Ma ku Ssande, n’annyonnyola bwati;
“Nnabadde e Masaka okuggalawo olukung’aana lwa Land Policy gye nnasanze abannyonnyola nti baakizuula nti waliyo abantu ng’alina ekibanja kya yiika 300, naye ng’asasula Busuulu wa 5,000/-, abalala nga bagamba nti ‘Norminal Fees’ ziveewo naye nga tewali agenze ku kinyusi, ekibanja ekyogerwako kyava wa, era twatandika tutya okuwa Busuulu?
Ka nkuyitiremu wano: Ensi yaffe baaginyaga, ng’abaginyaga be ffe Abaganda
nga twegasse n’Abazungu n’Abanubbi. Abanubbi tebaafunamu okuggyako Abaganda abatono abaakolagana n’Abazungu okukomya obwakabaka bwa Buganda. Kubanga bwakoma ng’endagaano ya 1900 eteekeddwaako emikono.
Buli Obwakabaka obwaliwo, yali nsi ng’omukulembeze waayo ow’oku ntikko ye Kabaka era nga y’alina obuyinza obwenkomeredde ku buli kimu, nga teri amuli waggulu nti oba Kkwiini.
Eyo y’ensi Buganda Muteesa gye yayitanga ‘Ensi ya Muteesa’. Ensi eyo yakoma mu 1900, ekyaddirira kwe kugabana obuyinza n’ebintu bya Buganda omuli n’ettaka. Olwo mu kugabana obuyinza ne Kabaka ne bagabirako mugabire nga bamuwa omulimu era ng’asasulwa n’omusaala, ng’abamusasula be bakulu aba Gavumenti ya Kkwiini wa Bungereza. Era n’erinnya baalikyusa ne liva ku Bwakabaka bwa Buganda ne batuumawo The Kingdom of the Province of Buganda.
Muteesa II ne Chwa II ebiwandiiko byabwe byonna ekyo kye kigambo ekibirimu. Naye abaateeka emikono ku ndagaano eno kazaalabulwa ye Sir Harry Hamilton Johnston ku
lwa Kkwiini wa Bungereza ate ku lwa Buganda baali Abakuza
’abakungu mu Bwakabaka bwa Buganda.
Bano aba Buganda kuliko: Apollo Kaggwa, Stanislaus Mugwanya, Zakariya Kizito
Kisingiri n’Abaami b’amasaza bonna abalambikiddwa obulungi mu ndagaano eya 1900. Abaaliwo ng’abajulizi kuliko J.F.Jackson (ono yali Vice-Consul owa Kkwiini)
J. EVATT, Lieutenant-Colonel bwe baali balwanye ne Kaggwa, James Francis, Bishop Alfred R. Tucker, Bishop of Uganda n’abalala bangi.
Kaakati, ne bateesa nti ettaka lya Buganda lyonna eritaaliko bintu nga nsiko lye baagamba nti lyenkanankana Square Mailo 900 nti Kkwiini wa Bungereza y’alitutte. Z’owulira nga bayita Mailo 900.
Kabaka wa Buganda n’aweebwa Square Mailo 350, n’agabana n’abalala ku bintu ebyandibadde ebya Kabaka yekka. Ate mu tteeka eddala eryajja awo mu 1908, erya Buganda Land Law, lyamuggyibwanako ng’omuntu ne lifuulibwa Public Land nga lya
nsikirano.
Omulala eyagabana yali Nnamasole eyaweebwa ettaka lye ng’omuntu, Square Mailo 6, endala 10 ne ziba nga za nsikirano ez’Obwannamasole. Ekitegeeza nti 10 zaafuuka Public Land eririna okusikirwa Bannamasole, naye weesanga ng’aba Buganda Land Board bagamba nti za Bwakabaka era mmanyiiko e Makindye awo lye baawamba.
Nnamasole maama wa Mwanga ne bamuwa Square Miles 10 n’Abalangira ne baweebwa
Square Miles 32 nga buli omu aweereddwa 8.
Ne wabaawo Abaamasaza 20, buli omu n’aweebwa Square Miles 8, nga Mailo zaabwe era omugatte ze Square Miles 160. Ate ne baweebwa eza ofiisi nazo munaana munaana, ze Square Miles endala 160, bagabana ensi yaffe.
Ate bwe kyatuuka ku bakuza, Kaggwa, Mugwanya ne Kisingiri buli omu n’afuna square Miles16 ezize ng’omuntu omugatte ze Square Miles 48, ate ne baweebwa eza ofiisi zaabwe okwali Katikkiro, Omulamuzi n’Omuwanika, ne bakwasibwa square Miles
endala 48.
Mbogo ne bagamba nti y’akulira Abasiraamu bonna ne bagamba nti ye n’abagoberezi be ne bamuwa.
Kaamuswaga wa Kkooki ne bamuwa square Miles 20 ng’omuntu, era nnalabako Katikkiro Mayiga ng’agenzeeyo mbu abanje ebintu ne bamugoba emisinde. Kubanga endagaano ekiraga nti bintu bya bali. Ne wabaawo abakungu abalala 1000 abaaweebwa square Miles 8 buli omu, olwo abo bonna abaaweebwa ettaka lya Mailo ne bafuuka abataka era bannanyini ttaka, naye nga tebalina gye baliguze wadde. Era ekyaddirira kwe kufuula Abaganda abalala abaali ku ttaka eryagabibwa ne batandika okuyitibwa abeebibanja