Abaana babiri bafudde, ate nnyaabwe n'atwalibwa mu ddwaaliro ng'ataawa mu kabenje akagudde e Iganga ku ssaawa 8:00 mu ttuntu.
Kabadde ku nkulungo y'e Bunya mu kibuga Iganga, loole Tata nnamba UBD 434F bw'etomedde pikipiki ya bbooda nnamba UGC 608 S, abagenzi kwe babadde batambulira ne nnyaabwe.
Abafudde kuliko omwana Miracle Isabirye ne Nadia Nakhimu 8, ate nnyaabwe Sumayiya Mutesi n'aweebwa ekitanda ng'ali mu mbeera mbi ddala. Babadde babeera ku kyalo Kyabuluza.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kafayo, agambye nti omuvuzi wa bbooda kigambibwa nti avuze bubi loole n'ebatomera ye n'adduka era bamuyigga.