Omuvubuka eyakulembeddemu okumenya ennyumba z'abatuuze akwatiddwa!

Sadik Tamale ye yakwatiddwa  nga bamulumirizza okuba n'akabinja akasula katigomya abatuuze b’e Kyebando , Kaleerwe , Mulago n'ebitundu ebirala.

Omuvubuka eyakulembeddemu okumenya ennyumba z'abatuuze akwatiddwa!
By Moses Lemisa
Journalists @New Vision
#Amawulire #Batuuze #Kukwata

ABAKULEMBEZE  bakutte omuvubuka eyakuliddemu okumenya amayumba g'abatuuze baabwe n’abatwala gye baakwese omunyago.

Sadik Tamale ye yakwatiddwa  nga bamulumirizza okuba n'akabinja akasula katigomya abatuuze b’e Kyebando , Kaleerwe , Mulago n'ebitundu ebirala.

Ono yabadde ne banne wabula ne badduka ye n’anywezebwa nga mu kusooka yasoose kwegaana oluvannyuma yalabye bamukalidde n'atwala abaserikale gye baakwese omunyago .

 

Muddu Kibe  akulira eby'okwerinda mu Kibe zzooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe ne Charles Zziwa omuwandiise ku lukiiko lwa Ssebina zzooni abaategeezezza nti okumenya amayumba  ye mwana baliwo mu kitundu kyabwe ekyawalirizza abakulembeze b'omuluka gwa Makerere III okwekolamu omulimu okutandika okusula nga bakuuma nga kino kibayambye nnyo.

Baagasseeko nti Tamale ne banne baamenye amayumba  g'abatuuze ab’enjawulo  saako n'ekifo  ekyokya ebyuma ne babbamu ebyuma  nga yatutte  abaserikale n'abakulembeze gye baabadde babikwese.

Tamale omusango yagukkirizza n'asaba ekisonyiwo ng'akuumibwa ku poliisi y'oku Kaleerwe ng'okunoonyerezza bwe kugenda mu maaso .

Julius Muwanga yagambye nti ekisinga okubaluma bwe bakwata ababbi ne batwalibwa ku poliisi bayimbulwa nga kino kimazeemu abantu amaanyi.