AKULIRA amakomera mu ggwanga, Dr. Johson Byabashaija alambuludde enkola egenda okugobererwa mu kulungamya emirimu gy'ekitongole kino.
Asabye abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo, okuginnyikiza eri bebatwala , okulaba ng'ekitongole kituukiriza obuvunaanyizibwa n' ebiruubirirwa byakyo.
Bw'abadde ayogerako eri abasirikale abeetabye mu 'Fourth Prisons Intermediate Command and Staff Course', ku PATS e Luzira', agambye nti okubudaabuda abasibe, okubabangula mu nkola y' emirimu n'okunnyikiza eddembe ly'obuntu, by'ebimu ku birina okugobererwa nga bakola emirimu.
Agasseeko nti empagi ettaano kwe beetoololera balina okuzinyweza , kuli, okukuuma obulungi abasibe, okubabudaabuda n'okubabangula mu mirimu egy'enjawulo.
Ebirala, mwe muli okulaba ng'abasibe bafuna obwenkanya, okulaba ng'ekitongole kino ky'ongerako omutindo ku bikolebwa , okunyweza obukulembeze n'okukuuma ebikolebwa mu kitongole n'ebirala.
Ayongedde okuwa abasirikale amagezi okuyaayaanira okufuna obukugu nga babangulwa ku mitendera egy'enjawulo mu nkola y'emirimu n'enkulaakulana