Minisita asanyukiddeko Abataka be baagulidde ettaka

MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka Sam Mayanja atenderezza Pulezidenti Museveni olw’okugulira Abataka ettaka ku luguudo lwa Kabakanjagala n’agamba nti, babadde beerabiddwa nnyo.

Minisita Mayanja
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka Sam Mayanja atenderezza Pulezidenti Museveni olw’okugulira Abataka ettaka ku luguudo lwa Kabakanjagala n’agamba nti, babadde beerabiddwa nnyo.
Yasinzidde ku pulogulaamu ‘Mugobansonga’ ebeera ku Bukedde FM Embuutikizi buli lwa Ssande okuva ku ssaawa 1:00-2:00 ez’ekiro. Mayanja yagambye nti, Abataka okuva mu 1900, babadde beerabirwa kuba mayiro z’ettaka abakungu abalala be baazigabana olwo bo ne baviiramu awo.
Kyokka tebaggwaamu maanyi era bazze babeera basaale ku nsonga endala nga okuzzaawo Obwakabaka ne bamala ne babasibira wabweru n’awa ekyokulabirako ky’omutaka Nadduli Kibaale gwe yagambye nti, yakola kinene mu nteeseganya nMu kiseera kino Pulezidenti bw’avaayo n’abagulira ettaka era n’akkiriza okubazimbirako ekizimbe galikwoleka eky’okumalawo obuwumbi 58, abeera muzira yennyini. Emirundi mingi Abataka bazze beerabirwa nga tewali abafaako ate nga bantu bakulu kuba ebifo byabwe si bya kirwanire tebirondebwa wadde okukubwako akalulu.
Abataka bazze beerwanako mu kutegeka okwegugunga okw’enjawulo okuva mu myaka gya 1900 nga baagala okufuna obuyinza kyokka nga balemesebwa. Olw’okuba nga Pulezidenti Museveni mwesimbu amanyi abantu be yalwana nabo mu nsiko nga baali Bataka kye yava yabajjukidde n’abawa ekirabo ky’okubasiima.
Abataka n’Abaganda beegatta wamu ne bakola ekibiina kya Uganda National Congress mu 1952 nga kigatta eggwanga lyonna nga bakulemberwa Ignatius Kangavve Musaazi, kuba baali bakiLwakubirizudde ng’ab’e Mmengo beenonyeza byabwe. Muteesa yali talwanirira Buganda, wadde abeebibanja, wadde okwefuga kwa Uganda, kye yali afaako yali ayagala kumanya ekifo kya Nnamulondo mu kwegatta kwa East Africa.
AYONGEDDE BWIINO KU
TTAKA LYA DAUDI CHWA
Mayanja yaleese ebbaluwa ya Daudi Chwa gye yawandiika nga June 7, 1938 kwe yaweera Abasikawutu n’Abagayidi ettaka ly’e Kaazi ku liizi ya myaka 100. Yiika 20 ezaasigalawo yazigabira mutabani we era omusika we nga omuntu George Mawanda.
Abantu abamu kye batamanyi, Daudi Chwa yalina abasika babiri okuli; Sir Edward Muteesa eyafuuka Kabaka ne Mawanda eyamusikira nga omuntu. Ebiwandiiko byonna biraga nti, ettaka ly’e Kaazi lyali lya Chwa nga omuntu era liizi bw’eba eweddeko, lirina kuddira musika we Mawanda. Era kino kye kiragiro naye Mayanja kye yawa era n’alagira omusika wa Mawanda David Namugala aweebwe yiika ze 20.
Minisita era yasomye n’ebbaluwa eyawandiikibwa Daudi Chwa nga May 12, 1953 ng’awandiikira muganda we George Mawanda. Ebbaluwa yategeeza nga bwe waaliwo entegeka z’okusengula ekkomera ly’e Kigo lidde e Ndejje naye ne beesanga nga tewali bizimbe. Bwe batyo baasalawo ekkomera ligira libeera ku ttaka lya Chwa.
Kyokka bino byonna minisita agamba nti, kkooti bwe yabadde esala omusango tebaamuwadde wadde omukisa ogumuwuliriza abawe bwiino ng’eyawawaabirwa.