OMUBAKA we Ntebe okuva mu kibiina Kya Democratic Front Micheal Kakembo Mbwatekamwa oluvannyuma lwo kwewandiisa ayisizza ebivulu mu kibuga kye Ntebe n'abasuubiza nti singa addamu okwesimbawo wakukakasa nti bafuna olutindo olugata Ekibuga kye Ntebe Ku Buwaya kubanga ensonga eno yagitandikako dda.

Stephen Shayka Gashaija ng'ayogera eri aba NRM e Ntebe
Ono agenze mu maaso n'agamba nti Ntebe efuuka ekibuga naye nti kino wakukikola singa adamu okukikirira Ntebe kubanga Kati alina obumanyirivu mu Palament.
Joyce Nabatta Namuli okuva mu NUP agambye nti oluvanyuma lw'okwewandiisa ayagala okukakasa nti ensonga z'abasomesa zikwatibwaako kubanga kikyamu abasomesa aba science okufuna sente enyingi okusinga aba Arts kyagamba nti kikyamu era nenguudo ayagala zikwatibweeko .

Joyce Nabatta owa NUP ng'ayogerako n'abantu be Ntebe
Steven Shayka Gashaija yeebaziza abatuuze be Ntebe okumuwagira naye nasaba abakulembeze abalina Card okuwereza abantu obulungi awatali kusosola mu bibiina naye nasaba okulonda omukulembeze we Gwanga Yoweri Museveni wamu nabakutte card ze kibiina Kya NRM .
Ono yeeyamye okulondoola ensonga za batuuze be Ntebe okuviira ddala kubavubuka basobole okuba nobulamu obulungi okuli nokubayamba okufuna emirimu nokufuba okulaba nga baganyurwa mu gavumenti.