Akwatidde ekibiina kya Nup bendera Robert Kyagulanyi Ssentamu atandise okutalaaga munisipaali y'e Nansana ng'anoonyeza munnamawulire Zambaali Bulasio Mukasa, omubaka omukazi owa Wakiso Betty Ethel Naluyima, Nasif Najja avuganya ku kya ssentebe wa disitulikiti n'abalala akalulu.

Abamu ku bawagizi ba Bobi oluvannyuma lw'okumulaba
Kyagulanyi awerekeddwako abakulrmbeze ab'enjawulo abakulembeddwamu omumyuka we ow'omu mambuka ga Uganda Dr.Lina Zedriga.

Abamu ku bawagizi ku kalina waggulu
Olukung'ana Kyagulanyi alukubye ku kyalo Bulesa mu ggombolola y'e Busukuma mu disitulikiti y'e Wakiso ng'eno Kyagulanyi atuukiddeyo mu maanyi.