Amawulire

Kyagulanyi asuubizza ab’e Karamoja ku bwavu

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu asuubizza okweyambisa obulungi ebyobugagga eby’omu ttaka ebiri mu kitundu ky’e Karamoja okusobola  okukulaakulanya ekitundu n’okuggya abaayo mu bwavu.

Kyagulanyi ng’ayogera eri abawagizi be e Nakapiripirit.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu asuubizza okweyambisa obulungi ebyobugagga eby’omu ttaka ebiri mu kitundu ky’e Karamoja okusobola  okukulaakulanya ekitundu n’okuggya abaayo mu bwavu.  Yabyogedde ggulo bwe yabadde anoonya akalulu mu disitulikiti y’e Nakapiripit, Amudat ne Nepak.
Yagambye nti Karamoja erimu ebyobugagga bingi ebisobola okuyamba ekitundu kino okuva mu bwavu, kyokka  olw’obukulembeze obuliwo obutalina kulumirirwa kiwadde
bannakigwanyizi omukisa okubibbako.
Ekitundu kino kirimu eby’obugagga okuli zaabu, mable,Uranium, Iron n’ebirala  by’agamba nti singa bibeera bikwatiddwa bulungi bisobola okukyusa ekitundu kyabwe.  Kyagulanyi yeeyamye okusoosoowaza empeereza eyambira awamu abantu b’ekitundu kino okuli amazzi amayonjo, amasannyalaze, enguudo, ebyobulamu n’ebyenjigiriza.
Kyagulanyi yalaze okunyolwa olwa gavumenti ya NRM obutafaayo ku kitundu kino. Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo ekya Uganda Bureau of Statistics (UBOS) mu lipoota ekwata ku bwavu mu ggwanga yalaga nti Karamoja kye kitundu ekisinga obwavu nga buli ku bitundu 74 ku 100 n’eddirirwa Busoga. Obwavu obuluma Abakaramoja bukubisaamu emirundi ena mu bwavu obuli mu ggwanga lyonna obukola obutundo 16.1 ku 100.
Kyagulanyi yabadde waakunoonya akalulu ne mu disitulikiti y’e Moroto wabula ab’ebyokwerinda tebaamuganyizza kutuukayo ne bamutegeeza nti ekifo we yabadde alina okukuba olukung’aana kirimu emikolo gy’amagye egya Tarehe-sita era yasanze enguudo zonna ezigendayo ziteereddwaamu emisanvu.

Tags: