Amawulire

Omuvubuka agambibwa okukasuukirira emmotoka ya poliisi ejinja erigyasizza endabirwamu akwatiddwa poliisi e Bulenga

Omuvubuka agambibwa okukasuukirira emmotoka ya poliisi ejinja erigyasizza endabirwamu akwatiddwa poliisi e Bulenga. 

Omuvubuka agambibwa okukasuukirira emmotoka ya poliisi ejinja erigyasizza endabirwamu akwatiddwa poliisi e Bulenga
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omuvubuka agambibwa okukasuukirira emmotoka ya poliisi ejinja erigyasizza endabirwamu, akwatiddwa poliisi e Bulenga. 

Deo kabira 25 y'agambibwa okukuba emmotoka ya poliisi nnamba UP 9770 mu zooni ya Lufula mu muluka gw'e Nakabugo e Wakiso. 

Kitegeezeddwa nti poliisi ebadde egezaako okugumbulula abamu ku bawagizi b'ekibiina kya NUP okuva mu kkubo omukulembeze waabwe, Robert Kyagulanyi Sentamu, bw'abadde ayolekera Sentema. 

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, gaambye nti okubuuliriza n'okunoonya abalala abeetabye mu fujjo, kugenda mu maaso. 

Tags: