Klezia etenderezza emirimu gya Sekitoleko

Omumyuka wa Bwanamukulu w’e Nansana, Faaza John Ssemaganda atenderezza omugenzi Yinginiya Simon Peter Ssekitoleko olw’emirimo emirungi gy’akoledde Klezia n’eggwanga. Ssekitoleko, 39, abadde akola nga Assistant Commissioner, Renewable Energy, mu ministry ya Energy and Mineral Development. Yafa ku Ssande nga November 3, oluvannyuma lw’okulumbibwa obulwadde bw’omutima.

Omugenzi Sekitoleko
By Mazinga Mathias
Journalists @New Vision

Omumyuka wa Bwanamukulu w’e Nansana, Faaza John Ssemaganda atenderezza omugenzi Yinginiya Simon Peter Ssekitoleko olw’emirimo emirungi gy’akoledde Klezia n’eggwanga. Ssekitoleko, 39, abadde akola nga Assistant Commissioner, Renewable Energy, mu ministry ya Energy and Mineral Development. Yafa ku Ssande nga November 3, oluvannyuma lw’okulumbibwa obulwadde bw’omutima.

Abakungubazi nga mu klezia

Abakungubazi nga mu klezia

Bweyabadde ayigiriza mu mmisa ey’okusiibula omugenzi, eyabadde mu Uganda Martyrs Minor Basilica e Munyonyo ku Bbalaza (nga November 4, 2024), Faaza Ssemaganda Yingingiya Ssekitooleko y’amwogeddeko nga Omukristu omulungi, abadde ayagala ennyo Katonda, omulimo gwe, nen famire ye. Y’ategeezezza nti wadde abadde mukugu mubya tekinologiya, naye abadde mwetowaze, ngayagalannyo abantu, ng’ababudaabuda, era ng’abayamba okwekulaakulanya.

“Yinginiya Ssekitoleko abadde musajja mwetowaze. Abadde amanyi ky’ayagala ate ng’akituukiriza. Bweyasisinkana mukyala we Vanessa, mu 2015, yamuwasizaawo era nga guno gubadde mwaka gwabwe 9 mubufumbo,” Ssemahanda bweyategeezezza.

Ssemaaada oluvannyuma y’asabye Abakistu okufuba okubeera abeetowaze, okwagala Katonda n’eggwanga lyabwe, n’obutayonoona budde mubitagasa, nga Yinginiya Ssekitoleko bweyakola.

Minister Omubeezi owa Energy ne Mineral Development, Phiona Nyamutoro naye y’atenderezza omugenzi Ssekitoleko n’agamba nti buli w’abadde abeera, abantu babadde bawulira ekisaakye, n’obuyambibwe. Y’amwogeddeko nga omusajja abadde n’essuubi, era ne ppulaani ennene mu maaso.

Abakungubazi nga basabira omwoyo gw'omugenzi

Abakungubazi nga basabira omwoyo gw'omugenzi

Mwannyina w’omugenzi, Phiona Lubanga ey’ayogedde kulwa banne omugezi y’amwogeddeko nga omuvubuka omukakaalukanyi, ate Katonda gweyawa ekitone ekyenjawulo eky’okunogera eddagala ebizibu ebyabuli ngeri.

Mukyala w’omugenzi, Vanessa Ssekitoleko y’ategeezezza nti bba abadde taata omulungi, omusanyusa, ayagala famire ye era bulijjo afaayo okujifissizaawo akadde.

ajifissizzaawo akadde. era asanyusa Klezi afill e era nga wadde abaadde mbeorm mnifhi abaadde afia okumanye ebi awakaa naaa ea ngaayagaa nnyo nulo.

Ow’ekitiibwa Dennis Walusmbi eyayogedde kulwa Elders’ Forum y’ategeezezza nti abantu basaanye bayise bulungi bantu bannaabwe kubanga buli muntu ajja kutuuka ekiseera ave mubulamu bw’ensin eno.

Fr Eugene Safari eyayogedde kulwa Ssezaala Franco Mugabe y’agambye nti Yinginiya Ssekitoleko abadde kikubagizo eri famire.

Okusabira omugenzi Sekitoleko

Okusabira omugenzi Sekitoleko

Missa Faaza Ssemaganda y’agyisomedde wamu ne Fr Eugene Safari, Fr Deogatas Mugabo ne Msgr John Waynand Katende.

Omugenzi Yimginiya Ssekitoleko abadde mutabani w’Omuserikale wa Paapa Francis Xavier Lubanga eyaliko Omuwandiisi ow’Enkalakkalira mu minisitule y’Eby’enjigiriza. Y’aziikiddwa ku bijja bya bajjajjaabe e Kisibe, Kapeeka, mu disitulikiti y’e Luweero ku Lwokubiri nga November 5, 2024