Kkooti eyimirizza omugagga Kalungi okuzimba ku Nasser Road

KKOOTI eyimirizza omugagga Moses Kalungi okuzimba ekizimbe kye yabadde asitudde ku Nasser Road nga bamulanga kuyingira mu ttaka ly’ekitongole ky’eggaali y’omukka. 

Kkooti eyimirizza omugagga Kalungi okuzimba ku Nasser Road
NewVision Reporter
@NewVision
#Nasser Road #Kkooti #Kuyimiriza #Mugagga

KKOOTI eyimirizza omugagga Moses Kalungi okuzimba ekizimbe kye yabadde asitudde ku Nasser Road nga bamulanga kuyingira mu ttaka ly’ekitongole ky’eggaali y’omukka. 

Amyuka omuwandiisi wa Kkooti Enkulu ekola ku nsonga z’ettaka omulamuzi, Rashidah Batanula yalagidde Kalungi, oba bonna abakolera wansi w’ebiragiro bye obutaddamu kukola mulimu omuli okuzimba, okusima, okutunda wadde okusaalimbira ku ttaka kw’abadde asitudde ekizimbe. 

Ekizimbe Kalungi Ky'abadde Azimba.

Ekizimbe Kalungi Ky'abadde Azimba.

Ettaka erikaayanirwa lisangibwa ku FRV440 FOLIO 29 PLOT 45-51 ku Nasser Road mu Kampala ng’abeekitongole ky’eggaali y’omukka ekya Uganda Railway Corporation balumiriza Kalungi okuyingira mu ttaka lyabwe ekitundu kya 0.51 acres. 

Aba Railway baddukira mu kkooti ne basaba eyimirize Kalungi ng’ayita mu kkampuni ye eya KJ company Limited nga bagamba bwe yali azimba yabayingirira. 

Omulamuzi Batanula y'abayimirizza okuzimba okutuusa ng’omusango ku bwannannyini gumaze okuwulirwa. 

Ekizimbe kino kibadde kiddukira ku misinde kigambibwa nti aba Uganda Railway bwe baamanya nti Kalungi azimbye mu kitundu ekitali kikye, ne beerula empenda kyokka Kalungi n’agaana amagezi ge bamuwa n’asigala ng’azimba aba Railway kwe kuddukira mu kkooti. 

Mu kkooti aba Railway baakiiriddwa Sarah Nambasa Masembe ne Majid Opolot ate Kalungi yakiiriddwa Ivan Nasasira, Pamba Egan ne Daisy Prudence Adong.