Bakutte abaguza abazadde ebicupuli by'empapula za liimu ezikozesebwa mu masomero

Abazadde nga bali mu keetalo k’okuzza abaana ku masomero wabaluseewo abafere abakolerera ebikozesebwa mu kusoma naddala liimu z’empappula n’okuzitoolamu empapula ne bakolamu endala ekifiiriza abazadde.

Bakutte abaguza abazadde ebicupuli by'empapula za liimu ezikozesebwa mu masomero
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Bazadde #Bicupuli #Masomero #Kugula #Mpapula #NassernRoad #Kukola #Kukwata

Abazadde nga bali mu keetalo k’okuzza abaana ku masomero wabaluseewo abafere abakolerera ebikozesebwa mu kusoma naddala liimu z’empappula n’okuzitoolamu empapula ne bakolamu endala ekifiiriza abazadde.

Poliisi mu kampala ekoze ekikwekweto ku batunda empapula ku luguudo lwa Nasser road mwekwatidde abasajja babiri abagingirira liimu z’empapula nebaziguza abantu.

 

Abaserikale ba poliisi ekkakkanya obujagalalo yasoose kuzingako kizimbe era ababaddewo basoose kwebuuza kigenda mu maaso era olwayingidde mu kizimbe baggukidde ku Mutagubya eyabadde akolera mu likuubo okukkakkana nga bamukkute.

Abaakwatidwa kuliko Mutagubya eyasangidwa ku kizimbe kya Muzza Plaza ku luguudo lwa Nasser Road mu Kampala ng’akola liimu nga bw’azipakira mu bibookisi.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi owa Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti okukola ekikwekweto kino kyaddiridde okufuna amawulire okuva mu bamu ku basuubuzi ababatemezzaako nga bwe waliwo ababafiiriza nga baguza abantu liimu z’empapula ezitayongeddwako mutindo ekitta akatale.

Onyango yategeezezza nti empapula bano ze bateeka mu liimu z’ezo eziyingizibwa eggwanga okubaako bye zikolebwamu oluvannyuma lw’okuzigattako omutindo wabula bo bafuna ebisabika by’ezo ezigattiddwako omutindo ne bapakiramu ezaabwe ze batundira ku bbeyi ey’awansi ekifiiriza abo abali mu mulimu gwe gumu abatunda entuufu.

Yagasseeko nti amatendekero mangi wamu n’ebitongole bizze nga bizira ebimu ku bika by’empapula zino olw’okuboonooneranga ebyuma olw’empapula okukwatiramu nga bakuba ebiwandiiko.

Yategeezezza nti liimu z’empapula bye bimu ku byetaago by’essomero ebibeera ebyettunzi naddala nga abayizi baddayo ku masomero era amasomero mangi gabaako ebika by’ezo ze beetaaga n’alabula abo abakola kino okukikomya mbagirawo kuba bakukwatibwa bavunaanibwe n’ategeeza nga abakwate bwe bagenda okusimbibwa mu kkooti essaawa yonna.

Onyango yasinzidde wano n’akubiriza abazadde okubeera abeegendereza nga bagula ebintu by’abaana be bazzaayo ku masomero nga beekenneenya obungi bwabyo ne bbeeyi gye bitundibwa naddala ebyo ebimanyiddwa ebbeeyi yaabyo nga tekyukakyuka.