OMUKAZI gwe baakwata ne desinte z’eggwanga bbiri nga zonna ziri mannya ga njawulo kyokka nga kuliko bifaananyi bye, kkooti emukalize yeebake e Luzira emyezi ebiri nga bw'afuna eky'okuyiga.
Mariam Bahati Mu Kkooti.
Oluva mu kkomero bamugambye addeyo mu kyalo akwate enkumbi. Mariam Bahati 44, y’abadde awerennemba n'emisango ebiri mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo nga kyakakasiddwa nti yasangibwa n’ekyuma ekisumulula (Screw Driver) ne Densite bbiri enjingirire nga biteeberezebwa nti yali agenda kubikozesa mu kubba wooteri ya Eminent e Lungujja.
Onesimus Mwesigye 32, Maneja wa wooteri eno bwe yajja mu kkooti yalumiriza Bahati okujja okupangisa loogi n’abasajja babiri be yagamba nti kirabika baali mu lukwe lw’okubba wabula n’abagwamu.
Yategeeza nti baatuuka ku Wooteeri ku ssaawa 7:00 emisana nga March 20, 2023 ne bapangisa Loogi ya 50,000 abantu basatu wabula ne bagaanibwa kubanga kyali kimenya amateeka g’ekifo agatakkiriza bantu basatu mu kisenge kimu era bakkirizaako babiri bokka.
Yannyonnyola nti waayitawo akaseera, yasanga omukazi ono agezaako kufulumira mu mulyango gw’emmanju olwo n’amukwata wabula abasajja ne badduka.
Baamwaza mu nsawo ye ey'ekikyala ne basangamu Screw Driver, ne densite bbiri mu mannya ga Sarah Nantumbwe eyazaalibwa mu December, 2, 1994 ne Jasmine Namukasa owa July 18, 1984 ng’ekyewuunyisa zonna zaaliko ebifaananyi bye (Bahati).
Bahati kyaddaaki yakkirizza omusango era n'ategeeza nti abasajja abo be yali nabo baamuggya mu kyalo e Kasese ne bamuleeta e Kampala era ne densite ezo be baazimukozeseza ku Nasser Road era yeegayiridde omulamuzi amuyimbule kuba yaleka abaana bana mu kyalo ng'ayagala kuddayo abalabirire wabula ne yeewera obutadda Kampala kuddamu kugwa mu misango.
Omulamuzi Adams Byarugaba yakigaanyi eky'okumusonyiwa era n'amuwa ekibonerezo kya kusibwa myezi ebiri mu kkomera kuba abadde ku Limanda okumala emyezi ena, yamukuutidde nti oluva e Luzira agende mu kyalo atandike okulima afune ssente ezimubeezaawo okusinga omukazi okwenyigira mu kuzza emisango.