Embeera ekyali ya kimpoowooze mu kibuga Kampala ng'abasuubuzi bakyagenda mu maaso n'okulaga obutali bumativu ku nsonga z'emisolo.
Okufaananako n'olunaku olw'eggulo ,amaduuka agamu maggale ,ate amalala maggule.Amaduuka agakyali amaggale kuliko agasangibwa mu Kikuubo, Nabugabo, Mukwano arcade,Mini price, Arua Park n'amala okuli n’ag'ewa Kisekka.
EKizimbe kya Grand corner ku mini price kibadde kiggale.
Ate agaggudewo kuliko agatunda amasimu ku Kampala road, ag'ebirime ku Container village, ag'oku Nasser Road ssaako ag'oku Ham.Embeera eno etabudde abakulembeze b'abasuubuzi ne batuuka n'okulangira abaggudewo amadduuka gaabwe okubalyamu olukwe.
Amaduuka agamu amaggale.
"Kyewuunyisa okulaba ng'abamu ku basuubuzi ababaddenga batusaba okulaga obutali bumativu ,ate mu kiseera kino be bakyagguddewo bizinensi zaabwe," bw’atyo ssentebe w'ekibiina kya Federation of Uganda Traders' Association (FUTA) ,John Kabanda bwe yategeezeza nga mwennyamivu.
Mu kiseera kino, embeera ekyali nzikakkamu era abantu abamu bakola mirimu gyabwe mu kibuga ng'eno abalala bwe batudde ku mbalaza z'ebizimbe ebikyaggaddwa.
Abasuubuzi bazzeemu okuggala amaduuka gaabwe eggulo(ku Lwokusatu) nga balaga obutali bumativu olwa pulezidenti Museveni okubaleka mu bbanga, oluvannyuma lw’okwongezaayo ensisinkano yaabwe gye yabadde ategese nga July 31, 2024 eggulo, okwanukula ku nsonga ze bamuloopera gye buvuddeko e Kololo.
Nakasero Complex naye muggale
Mu zimu ku nsonga zino mwalimu; eya EFRIS, ey'okukkakkanya ku misolo, eya Bamusigansimbi abatembeeya ebintu mu kibuga n'endala. Era nga zino ze baabadde baagala ayogereko ,kyokka n’atakikola ekyabanyiizizza ne baggala amaduuka gaabwe.