Enteekateeka z’emisinde gy’amazalibwa ga Ssabajja Kabaka egy’okubaawo ku Ssande eno nga April 7TH 2024 mu Lubiri lwa e Mmengo z’ongedde okukwata abantu omubabiro ne bajjumbira okugula emijoozi okusobola okujeetabamu.
Nga bweri enkola ya Bukedde ey’okuwomanga omutwe mu ddiimu ly’okutuusa emijoozi ku bantu ba Beene yonna gyebali ne ku mulundi guno batandikiddewo.
Okugula emijoozi
Bano abakulembeddwamu amyuka akulira ebivvulu mu Vision Group, Kennedy Mwota batalaaze ebitundu eby’enjawulo okubadde Nasser road, Container Village, Ham shopping n’awalala era yonna ng’abantu bagula mu bungi.
Abalala abaguze kubaddeko aba Maxbat e Kireka, abaguze emijoozi gya mitwalo 50, aba Twin Tower Hotel e Makerere Kavule baguze gya mitwalo 50 n’balala nga ssente bazikwasizza Kenneddy Mwota.
Xl 9
Mu ngeri y’emu ne bannabyamizanyo abaaguzannyako ab’egattira mu kibiina ki Former Footballers’ initiative, baguze tiketi z’emisinde gy’amazaalibwa ga Ssabasajja Kabaka gye banonye wano ku kitebe kyaffe.
Mwota ku lwa Bukedde, yeebazizza abaguze emijoozi era n’akunga abalala okuvaayo nabo batuyite tubatwale kubanga tweyama okuwagira Beene.
Emijoozi gy’omwaka guno gitundibwa ku 20,000/- nga Bukedde ekyagenda mu maaso n’okutalaaga ebitundu ebirala nga ne ku kitebe kyaffe wano mu Industrial are weegiri.