Kkooti egobye ogubadde guvunaanibwa banna FDC 14

OMULAMUZI Ronald Kayizzi ku kkooti ya Buganda Road agobye omusango ogubadde guvunaanibwa bannakibiina kya FDC e 14 abaali baakwatibwa nga beekalakaasa oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta abajulizi.

Kkooti egobye ogubadde guvunaanibwa banna FDC 14
By Harriet Nakalema
Journalists @New Vision
#Musango #Kkooti #FDC #Kugoba #Omulamuzi Kayizzi

OMULAMUZI Ronald Kayizzi ku kkooti ya Buganda Road agobye omusango ogubadde guvunaanibwa bannakibiina kya FDC e 14 abaali baakwatibwa nga beekalakaasa oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta abajulizi.

Bannamateeka b'oludda oluwawaabirwa nga bakulembeddwa Samuel Wanda baasabye kkooti egobe omusango kuba oludda oluwaabi lubakandaalirizza okuleeta abajulizi baalwo.

Omulamuzi Kayizzi mu nsala ye yategeezezza nti abakwate bano omusango baaguzza nga August 5, 2024 wabula oludda oluwaabi lwalemererwa okuleeta abajulizi era nti azzenga abawa ennaku ez’enjawulo okuleeta abajulizi.

Bano okuli Kaija Harold, ssaabawandiisi w'ekibiina, munnamateeka Musinguzi Wahab, Kamara Nicholas omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Kabale , omubaka wa palamenti owa Kira munisipaali, Ibrahim Ssemujju Nganda, Doreen Nyanjula omumyuka wa loodimmeeya, Ingrid Tulinawe n'abalala be babadde bavunaanibwa.

Omusango ogubadde guvunaanibwa bano kigambibwa nga August 5, 2024 ku luguudo lwa Katonga mu Kampala, beeyisa nga ekitagasa nga baziba amakubo ekyali kikontana n'amateeka ga gavumenti ya Uganda.

Wabula bano basigazzaayo omusango omulala mu kkooti y’emu ogw’okweyisa nga ekitagasa era nga guwulirwa omulamuzi Kayizzi.