Bya Edith Namayanja
EKITONGOLE ekivunaanyizibwa okulondoola omutindo gw'ebintu mu ggwanga ekya National Drug Authority kikakasizza nti kimanyi bulungi nti waliwo Bannayuganda abaliisa ebisolo okuli embizzi n’enkoko eddagala eriweweeza akawuka ka mukenenya erya ARV, okuzijjajnjaba endwadde, okugejja n’okukula amangu.
Gye buvuddeko olupapula lwa New Vision lwafulumya emboozi eraga ng'abalunzi abamu bwe beeyambisa eddagala lino okujjanjaba ssenyiga mu mbizzi (swine flue), New Castle mu nkoko ate ng' ababala balyembasiba okukuba enkoko ezibeera zigenda okuliibwa ne zigejja.
Abatwala ekitongole kino leero balabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola enteekateeka za gavument ez’okulwanyisa akawuka ka mukenenya ,ababaka ku kakiiko kano mwe babateeredde ku nninga bannyonnyole ku biwulirwa ku nsonga eno eyawuniikiriza eggwanga.
Amos Atumanya nga yeekebejja ddagala mu NDA mu kwanukula agambye nti ensonga eno, ekitongole kigimanyi bulungi era nga bakitegeerako emyaka egiyise wabula nga balina kugigendako mpola olw’obulabe bwayo eri ebyenfuna by’eggwanga.
Agumiza nti waliwo enteekateeka ze bakola okugyanganga wabula nga zikolebwa mu ngeri ya twekisize nti kubanga ate bannansi abangi bwe bakitegeera ate nabo bayinza okukola ensobi yeemu nga bawudiisibwa olw’okwagala okwenogera ku nsimbi mu ngeri ate emenya amateeka.
Omubaka wa Agule County, Polycarp Ogwari , agambye nti ssi ARVs zokka ze zikozesebwa wabula ebika by'eddagala eby’obulabe bingi eri obulamu bw’abantu ebikozesebwa n'abafumbi b’emmere okufumba ku masomero nga panadol mbu agyisa mangu ebijjanjalo ekivuddeko abaana bangi okulwala alusa nga bakyali bato.
Ogwari agambye nti bino bye biviiriddeko abantu okusangibwamu endwadde naddala ez’omubyenda, omutima, ekibumba kokoolo okweyongera mu bannansi lwa bintu nga bino kukolebwa ng' ate ekitongole kisirise busirisi.