Obusiraamu buviiriddwako Sheikh Ismail Sulaiman Nkata, abadde omukenkufu mu kusomesa ebyafaayo by'Obusiraamu.
Sheikh Nkata abadde omusomesa w’eddiini omutendeke okuva mu mawanga ga Buwarabu ag’enjawulo yafiiridde mu ddwaliro e Nsambya leero ku Lwomukaaga nga 16/12/2023 akawungeezi oluvannyuma lw'okulwalira wiiki ssatu.
Omugenzi Sheikh Nkatta bw'abadde afaanana.
Sheikh Imam Kasozi, omu ku babadde mikwano gy'omugenzi yategeezezza nti akoze omulimu munene okusomesa obusiraamu era n'amusabira Allah amuweemu empeera.
Sheikh Nkata abadde yeegulidde erinnya mu kusomesa ku nsonga ez'enjawulo ku Busiraamu ku mikutu emigattabantu.
Sheikh Zakaria Kyewalyanga akulira okutwala abalamazi e Mecca naye yatenderezza omulimu Nkata gw'akoledde eddiini ye mu bbanga ery'emyaka egisoba mu 30 ng'asomesa.
Munnamityana Ali Sekamatte nga mu kiseera kino awangaalira South Africa yagambye nti sheikh Nkata abadde atera okugendayo n'abasomesa ebintu ebitali bimu ebikwata ku ddiini yaabwe.
Nkata asomesezza mu masomero g'Obusiraamu okwetooloola eggwanga lyonna era y'omu ku basomesa b'eddiini eno abalina bamaseeka abangi abayiseeko mu mikono gye.
Bamaseeka bangi be yasomesako bamwogeddeko ng'omusajja abadde anywerera ku kigambo kye naddala kasita kiba nga kikwata ku ddiini ye.