Bya Juliet Anna Lukwago
Essaza ekkulu erya Kampala lifiiriddwa waalyo Dr. Josephine Nsubuga Mugoa, 63.
Dr. Josephnine Mugoa ono abadde mutuuze w’e Mpereerwe mu Kampala era yafiiridde mu ddwaaliro ly'e Nsambya mu kiro ekikeseeza olwaleero.
Dr. Josephine Mugoa yalondebwa Abakristu bonna mu ssaza ng'omuwanika wa Kampala, ekifo kyaweerezaamu okumala emyaka ena okutuusa Omukama bw’amujjuludde. Alese omwami we Jackson Mugoa n’abaana.
Okusinziira ku Ssaabakristu wa Kampala, Ivan Aloysious Kalanzi ng'ono y’akulira olukiiko, omugenzi kw’abadde aweerezza ajja kusabirwa mu Eklezia e Lubaga enkya ku makya, oluvannyuma omubiri gwe gwakutwalibwe mu maka gaabwe e Mpereerwe mu kigo ky’e Kanyanya wabeewo Ekitambiro kya Mmisa era wegujja okusula.
Yategeezezza nti ku Lwokusatu gwakuggyibwawo gutwalire ku Eklezia y’ekisomesa e Mpereerwe wabeerewo Mmissa ku ssaawa 4:00 ez’enkya ate aziikibwe kw’olwo e Ddundu ku luguudo oludda e Kalagi okumpi n’amaka ga Dr. Specioza Kazibwe.