EBYENFUNA ku ntandikwa ng’Obwakabaka bwa Buganda buzziddwaawo mu 1993,
tebyali byangu kubanga tewaali nnyingiza yonna etegeerekeka, okutambuza emirimu
gy’Obwakabaka.
Etteeka mu Ssemateeka wa Uganda eyazzaawo Obwakabaka, lyalagira nti, kino kikolebwa wakati mu kubuddiza n’ebintu byabwo nga muno mwe mwali
n’ettaka.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, omuwanika wa Buganda era minisita avunaanyizibwa ku kuteekateeka, obusizi bw’ensimbi, Robert Waggwa Nsibirwa atendereza abakungu ba Kabaka abaaliwo mu kiseera ng’Obwakabaka
bwakaddawo nti, bakola kinene okulaba nga babuyiiyiza, ebintu omuyinza okuva ensimbi, butambule.
“Baafuba okuteekawo ofiisi ate ne bawaayo obudde nga tebasasulwa wadde okuyingiza
okulaba ng’Obwakabaka byimirirawo,” Nsibirwa bw’agamba.
Mu 1994, ekitongole kya Buganda Land Board ekirondoola Busuulu, envujjo n’ekkanzu
ku ttaka mayiro 350 eryali liddiziddwa Kabaka kyatandika okusolooza ku nsimbi, era ezo zaayamba okutambuza emirimu. Ssente ezo Kabaka yasiima zikole ku Nkuluze ate n’okuddukanyagavumenti ye.
Mu 2013 gavumenti yakomyawo ettaka ly’Amaggombolola n’Amassaza.
Ettaka lino lyegatta ku mayiro 350. Bino byakomezebwawo mu ndagaano, gavumenti eya wakati mwe yeeyamira okutandika okusasula Obwakabaka ensimbi ezaali zisukka obuwumbi butaano.
Mu mboozi ya Bukedde ne Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yategeeza
nti, ensimbi ezo gavumenti z’ezze esasula Obwakabaka, kwe kuggyiddwa ezo
ezeeyambisiddwa okuzimba amalwaliro agabbuddwaamu Ssekabaka Muteesa II e Busimbi- Mityana, Nyenga-Kyaggwe neMukungwe-Buddu. Zikozeseddwa ne mu nkulaakulana endala.
Embalirira 2013/2014 yali ya buwumbi bubiri n’obukadde 300 eyasomebwa eyali Omuwanika Eve Nagawa. Ate emabega embalirira yali ya nsimbi ntono. Omwaka ogwo
waateekwebwawo enteekateeka nnamutaayiika ya myaka etaano okulaba engeri ennyingiza gy’eyinza okugaziyizibwa okwongereza ku nsimbi ezaali ziva mu BLB ne CBS.
l Kabaka yasiima mu 2013 n’ateekawo Minisitule w’ebyokuteekateeka, okusiga
ensimbi n’okukulaakulanya ebyenfuna mu Bwakabaka ng’eno ya njawulo ku y’Omuwanika.Minisitule eyo yateekebwamu Robert Waggwa Nsibirwa ne batandika okutema empenda ezikola ennyingiza. “Mu makubo ago ge twalaba, twalina okuyita mu kuyiiya nga tulaba nti, obwagazi bw’Obwakabaka, ettutumu ly’Obwakabaka ate n’emirimu gy’Obwakabaka abantu basobola okugitwala mu maaso, naye ate nga bwe bayingiza n’ensimbi mu ggwanika,” Nsibirwa bw’annyonnyola.
l Emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka egyatandika n’abantu 1000 mu 2014 kati gyetabwamu abantu abasukka 120,000 we twogerera.
Gino giyambye okuvaamu obujjanjabi eri abantu, okutangira endwadde ate ng’eggwanika liyingiza ensimbi eziyambye okutambuza emirimu
gy’Obwakabaka.
Ensimbi zivudde mu Bannamukago abangi abeegasse ku nteekateeka
eno.
l Okuteekateeka emipiira gy’Amasaza nayo yayongerwamu amaanyi nga fayinolo eyali
esambibwa e Wankulukuku, yatandika okutwalibwa e Namboole.
l Oluwalo ly’erimu ku makubo ageeyambisibwa okukuhhaanya ssente. Mu nkola eno abantu okuva mumaggombolola okuleeta ensimbi eziyamba okuddukanya emirimu gy’Obwakabaka egy’enjawulo.
l Obweruufu bwongedde okuleetera abantu okweyuna emirimu gy’Obwakabaka n’okukolagana nabwo mu ngeri ey’omuggundu.
l Omwaka guno, Obwakabaka bwasomye embalirira ya buwumbi 305. Kino kiraga okukula kw’ebyenfuna by’Obwakabaka. Mu 2024-2025 embalira yali ya buwumbi 257, 2023-2024 buwumbi 209, 2022-2023 buwumbi 157, ate 2021-2022 buwumbi 119. Enteekateeka zonna zino ezikoleddwa, ziyambye okusitula embeera z’abantu wamu n’ebyenfuna ate mwe baggye amaanyi okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.